PULEZIDENTI Museveni awaddeyo obukadde ataano eri ekifo kya Mt. Sion Prayer Centre Bukalango okuyambako nga bajaguza olw'okuweza emyaka 25 bukyanga kifo kino kigungibwawo.

Jesca Alupo ng'awaayo ettu
Ensimbi zino pulezidenti azitisse omumyuka we Jesca Alupo eyasoose okuggulawo ekisulo ky'Abasisita pulezidenti kyeyabazimbidde n'etterekero wamu n'edduuka ly'ebitabo byakwasizza ssaabasumba Paul Ssemwogerere.

Ssaabasumba Paul Semogerere, Jesca Alupo omumyuka wa Pulezidenti wamu ne Katikkiro wa Uganda Robinah Nabbanja nga basala cake
Omukolo gwetabiddwako katikkiro wa Uganda Robinah Nabanja minisita omubeezi ow'ebyenjigiriza John Chrysestom Muyingo omubaka wa pulezidenti e Wakiso Justine Mbabazi.

Tm 20
Mububaka bwe obusomeddwa omumyuka we Jesca Alupo pulezidenti asiimye obuweereza bw'ekifo kyebukalango kyagambye nti kikoze kyamanyi mukulakulanya eggwanga olw'okuzzaamu lw'okubudabuda abantu essuubi, empisa n'obuntu bulamu n'asiima obukulembeze bwa Krezia n'obukulembeze bwa Bukalango.

Tm 35
Pulezidenti asabye abakulembeze ba Bukalango okwekubamu tooci ku myaka 25 n'okwefumiitiriza ku kigendererwa ekikulu ekyatandikisaawo ekifo kino neyeeyama okwongera okukiwagira.
Katikkiro Nabanja awaddeyo obukadde 35 okuyambako okuzimba ennyumba ya ba faaza