Amawulire

Owa Boda Boda agambibwa okusobya ku mwana ow'emyaka omwenda Poliisi emukutte

POLIISI e Wakiso ekutte n’eggalira omuvuzi wa booda booda agambibwa okusobya ku mwana ow’emyaka 9 eyabadde aleekeddwa jjajja we ewaka ne banne. 

Owa Boda Boda agambibwa okusobya ku mwana ow'emyaka omwenda Poliisi emukutte
By: Peter Ssaava, Journalists @New Vision

POLIISI e Wakiso ekutte n’eggalira omuvuzi wa booda booda agambibwa okusobya ku mwana ow’emyaka 9 eyabadde aleekeddwa jjajja we ewaka ne banne.
Moses Ssebaggala 39, nga muvuzi wa booda booda e Mende yeyakwatiddwa poliisi e Wakiso oluvannyuma lwa poliisi okuweebwa akatambi akalaga Ssebaggala ng’asobya ku mwana omuto.

Ssedduvutto ng'ali ku poliisi e Wakiso

Ssedduvutto ng'ali ku poliisi e Wakiso


Okusinziira ku omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano, Racheal Kawala, Ssebaggala ekikolwa kino yakikola nga April 16, 2026 ku kyalo Mabombwe mu ggombolola ye Mende e Wakiso.
Kawala yagambye nti Ssebaggala abadde akozesebwa ng’owa booda ewaka ekintu ekyamwanguyidde okusobya ku mwana oluvannyuma lw’okumanya nti jjajja we yabadde alina waali.
Yagambye nti bamuguddeko omusango gw’okusobya ku mwana n’obuliisa maanyi era ng’okunonyereza kugenda kukolebwa omuli okukebera omwana ne Ssebaggala okumanya obulamu webuyimiridde.
Kawala yasomoozezza nnyo abazadde okwogera n’abaana baabwe kibayambe okwetangira abasajja oba abantu abayinza okugukozesa ng’omukisa okutuusa ku baana obulabe.

Omwogezi wa Poliisi mu Kampala Racheal Kawala ng'annyonnyola

Omwogezi wa Poliisi mu Kampala Racheal Kawala ng'annyonnyola


“Mubayigirize okukuba enduulu nga waliwo ebifo eby’obulabe webabakutte, naffe nga poliisi tujja kwongera okusomesa abantu kubutya bwebayinza okukuuma abaana babwe ate baleme kutusibwako bizibu nga bino.” Kawala bweyayongeddeko.
Jjaajja w’omwana annyonnyodde;
Joyce Mbatya, jjajja w’omwana yategezezza Bukedde nti Ssebaggala yagenze ewuwe ng’ayagala nkoko kyokka nti ono zaali zimuweddeko, kwekusalawo akubire muganda we (Mbatya) era nategeeza nti ye alinayo enkoko.
“Enkuba yabadde etonnya kyokka ne ntambulira ku piki piki ya Ssebaggala, okugenda ewamu muganda wange era netutandika okunoonya enkoko zetuguza Ssebaggala. Wano Ssebaggala weyakozesezza omukisa naddayo ewaka nasobya ku kazzukulu kange.” Mbatya bweyayongeddeko.

Poliisi ng'ekutte owa Boda agambibwa okusobya ku mwana

Poliisi ng'ekutte owa Boda agambibwa okusobya ku mwana


Yagambye nti abaana abaabadde ewaka baakutte akatambi era nebadduka mangu okukamutwalira era naye olw’akalabye nalinnya piki ey’amangu eyamututte ewaka, era agenda okutuuka ng’abatuuze bamukutte dda Ssebaggala nga bagala nakumutta.
Ono yakwatiddwa abakulembeze b’ekyalo nebamutwala ku poliisi e Namusera gye baamuggye nebamutwala e Wakiso ku poliisi enkulu ng’okunonyereza kumusango bwekugenda mumaaso.