BANNAYUGANDA abeetabye mu kitambiro kya Mmisa ekyayimbiddwa omutukuvu Paapa Leo IV ku bugenyi bwe yabaddeko mu Algeria essanyu likyababugaanye.
Omubaka wa Uganda mu Algeria, Ambasada Alintuma Nsambu era eyabadde ku lukiiko olwategese okukyala kwa Paapa okwabaddewo nga April 13 ne 14, 2026 yakulembeddemu ekibinja kya Bannayuganda abasomera mu Algeria n’abalala abaavudde mu Uganda okwaniriza Omutukuvu.

Ekibinja kya bannayuganda okuva e Masaka nga bali ku bugenyi mu Algeria gye baasisinkanidde Paapa Leo IV
Deus Mutiibwa yagambye nti Paapa yasanyukidde engeri gye baayambaddemu amakanzu ne gomesi kuba baabadde banjawulo nnyo ku bantu abalala era baggyeyo ekitiibwa kya Buganda.

Paapa Leo IV ng'asisinkanye bannayuganda mu Algeria
Ekibinja ekyavudde mu Uganda kwabaddeko; omuwandiisi omuwandiisi w’omusumba we Masaka Fr. Alex Kiyimba, Bwanamukulu we Luvule Fr Joseph Kamoga Joseph ne Bwanamukulu w’ekigo kye Narozali Fr. Mary Vianney Tamale.
Mutiibwa yagambye nti baafunye omukisa okusisinkana Paapa era abamu yabakutteko mu ngalo n’okubawa omukisa era ne yeebaza Ambasada Nsambu eyakoledde entegeka.

Paapa Leo IV
Obugenyi bwa Paapa bwaliko mu Africa bwakumala ennaku 10 okutuuka nga April 23, 2026. Ensi zaagenda okutuukamu kuliko; Algeria, Cameroon, Angola ne Equatorial Guinea.