Amawulire

Obukadde 100 Museveni z’awadde ababaka ba NRM zoogezza abantu ebikankana

ENSIMBI obukadde 100 Pulezidenti Museveni ze yawadde buli mubaka wa NRM abali mu Palamenti empya, zoogezza abantu ebikankana nga beebuuza kiki ky’abeebaza naddala mu kiseera kino nga Bannayuganda balina obulumi obw’ebbeeyi y’ebintu okwekanama.

Pulezidenti Museveni ng’ayogerako eri ababaka e Ngoma.
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalists @NewVision

ENSIMBI obukadde 100 Pulezidenti Museveni ze yawadde buli mubaka wa NRM abali mu Palamenti empya, zoogezza abantu ebikankana nga beebuuza kiki ky’abeebaza naddala mu kiseera kino nga Bannayuganda balina obulumi obw’ebbeeyi y’ebintu okwekanama.
Biddiridde Pulezidenti Museveni okulangirira mu lujjudde nti agenda kuwa ababaka ssente zibayambe okwetegekera okulayira n’okwetereeza mu byenfuna. Yabadde ku ffaamu ey’Obwapulezidenti e Ngoma mu disitulikiti bwe yabadde aggalawo olusirika lw’ababaka aba NRM n’abamu ku babaka abaawangudde akalulu nga tebeesimbiddeewo mu bibiina kyokka nga bawagizi ba NRM.
Lwetabiddwaamu ababaka aba NRM 354 n’ababaka 40 abatalina bibiina nga bonna omugatte baabadde 394 nga buli mubaka waakufuna obukadde 100 ekitegeeza nti bonna awamu Gavumenti egenda kubasaasaanyaako obuwumbi 39 n’obukadde 400.
Museveni yagambye nti agenda kusooka kubawa obukadde 20 buli omu n’oluvannyuma baweebwe obukadde 80.
Ssente zino zoogezza abantu ebikankana abamu ne balumiriza nti baziraba ng’enguzi kubanga tebazikoleredde.
Omusumba Solomon Male yagambye nti, yeewunya engeri ababaka bano abaweereddwa omusimbi omuyitirivu engeri gye banaalwanyisa obuli bw'enguzi .
N’agamba nti, kino kiraga nti mu Palamenti ebiteeso byonna bye banaayisa bijja kwekubira ku ludda lwa Pulezidenti. Yawadde ekyokulabirako mu Palamenti ezaayita engeri gye baayisanga ebiteeso nga okuggya ekkomo ku myaka gya Pulezidenti n’ebirala. Ne yeebuuza Pulezidenti gye yaggye ssente zino, nti ezo zirabika za muwi wa musolo.
Ssaabawandiisi wa NUP, Lewis Lubongoya yagambye nti, kyannaku nti ebyenfuna bya Uganda bigenda kuggyibwamu obuwumbi kumpi 40 ziweebwe ababaka nga tebazikoleredde, ne yeewuunya Pulezidenti okugabira ababaka ssente nga yaakamala okubalabula ku nguzi!
Omukungu wa FDC Norman Turyatemba yagambye yeewuunyizza ababaka obutagaana ssente zino kubanga buno bulyake.
Loodi meeya wa Kampala omulonde Ronald Balimwezo yalaze ennyiike nti ssente ezo mpitirivu okuweebwa abantu ab'olubatu, nti waakiri zandiweereddwaayo ne ziyambako okumaliriza okuzimbira abantu obutale abagobebwa ku makubo. N’agamba nti, ssente ezo zisobolera ddala okuzimba amasomero 4 aga UPE. Nti kale waakiri zandiyambye ku misaala gya bassentebe b'ebyalo abasasulwa obubi.
ABA NRM BASIIMYE PULEZIDENTI
Wabula ssentebe w'omukago ogutaba ebibiina by'obufuzi mu ggwanga, Godfrey Kiwanda Ssuubi yawagide ekya Pulezidenti okuwa ababaka ssente n’agamba nti, kijja kuyambako ababaka bano okutandika emirimu gyabwe nga tebalina kuwankawanka.
Yannyonnyode nti, kino kitaasa ababaka obutagwa mu mabanja kuba mu Palamenti eziwede mubadde mu ababaka abeekweka nga tebakiika lwa mabanja.
Dayirekiya w’ebyamawulire ku kitebe kya NRM Emmanuel Dombo yagambye nti, olw'okuba Uganda nsi ngyavu (ya baavu) abantu bwe bawulira obukadde 20 balowooza ssente nnyingi nnyo. Yeebazizza Museveni olw'okulumirirwa ababaka n'abasaba baleme kumuswaza beewale obuli bw'enguzi