ABANTU babiri baweereddwa ebitanda mu ddwaaliro lya KIU, Bus ya kampuni ya Global ebadde eyisa emmotoka endala, bw'etomedde Tipper bwenyi ku bwenyi e Bushenyi.
Akabenje kabadde mu kifo awaali Banyankole Kweterana factory e Busenyi, bbaasi ya Global nnamba UBE 159 N Isuzu ebadde eva e Ishaka ng'eyolekera Mbararara bw'etomedde tipper.
Kitegeezeddwa nti omugoba wa baasi eno mu kugezaako okuyisa, atomeregenye ne tipper nnamba UBK 390M omubadde abantu basatu era dereeva ne taanimaani aba Tipper ne balumizibwa.
Bombi, batwaliddwa mu ddwaaliro lya KIU e Bushenyi ,nga poliisi bw'eyigga dereeva wa bbaasi eyo , okusinziira ku mwogezi wa poliisi mu Greater Bushenyi Apollo Tayebwa.