Amawulire

Kasolo agambibwa okutigomya abe Matugga poliisi emukutte

Omusajja owomutawaana agambibwa okukulira akabinja akamanyiddwa nga KASOLO akatigomya abatuuze e Matugga n'emiriraano, akwatiddwa mu kikwekweto ekikoleddwa poliisi n'amagye. 

Kasolo agambibwa okutigomya abe Matugga poliisi emukutte
By: Godfrey Kigobero, Journalists @New Vision

Omusajja owomutawaana agambibwa okukulira akabinja akamanyiddwa nga KASOLO akatigomya abatuuze e Matugga n'emiriraano, akwatiddwa mu kikwekweto ekikoleddwa poliisi n'amagye. 

Ekikwekweto kino, kikoleddwa mu bitundu by'e Matugga- Kasangati ne Kawempe era ne bakwata Isaac Owori amanyiddwa nga Mbolimboli. 

Ono n'abalala, bagambibwa okuba nga bebabadde emabega w'obubbi, obutemu n'okusobya ku bakazi mu bitundu ebyo. 

Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala, Luke Oweyesigyire, agambye nti omuyiggo gw'abalala, gugenda mu maaso