EYALI landiloodi wa Okello agambye kkooti nti yali musajja atalina tabbu ng'era azannya wadde baali tebawulira byayogera.
Paul Mukasa 43 ng'abeera Bbunga Okello gyeyampangisa okuva November 2025 agambye nti mu kiseera Okello gyeyapangisa ewuwe teyamulabamu buzibu.
" Yali azanya n'abaana nga bwafuuma n'abasanga wabweru abazanyisa lwakuba obuzibu baali tebategeera byayogera" Mukasa bwaganbye kkooti.
Agambye nti Okello yasula ewuwe emyezi esatu ng'asasula emitwalo 15 ez'ennyumba ate amasanyalaze emitwalo ebiri wabula omwezi ogw'okuna teyagumalaayo n'asenguka.
Abuulidde kkooti nti Okello era teyalina bagenyi bamukyalira okuggyako nnyina.
Okuwulira omusango kukyagenda maaso.