Amawulire

Katikkiro Mayiga alaze obulabe bw'okukolera ku ngambo

KATIKKIRO wa Buganda Charles Peter Mayiga agambye nti teri kintu kigootanya bukulembeze nga ngambo

Katikkiro Mayiga ng'ayogera eri Abaami ba Kabaka mu Ankole ne Kigezi
By: Dickson Kulumba, Journalists @New Vision

KATIKKIRO wa Buganda Charles Peter Mayiga agambye nti teri kintu kigootanya bukulembeze nga ngambo.

Mayiga agamba nti omwami tateekwa kutambuliza bukulembeze ku ngambo kubanga tezirina kyeziyamba mu ntambuza y'emirimu.

An 3

An 3

Okwogera kino abadde asisinkanye abaami ba Kabaka ku mitendera egy'enjawulo mu kitundu kya Ankole ne Kigezi ng'ensisinkano eno ebadde ku Hotel Triangle mu kibuga Mbarara olwaleero.

"Omwami tagendera ku ngambo. Teri kintu kyonoona bukulembeze nga ngambo. Omuntu asobola okukuletera olugambo nti waliwo atakwagala, tokitwala butwazi. Kirungi onoonye obukakkafu bwaakyo," Mayiga bwagambye.

Abaami ku mitendera egy'enjawulo okuli Omumyuka w'Omubaka wa Kabaka mu Ankole ne Kigezi, John Kalibbala, abakulembeze ku Lukiiko lw'Omubaka, ab'e ggombolola saako n'abemiruka.

Bano Mayiga ayongedde n'alambika abaami bano kweebyo ebirina okukolebwa Omwami wa Kabaka mu buwereeza.

Mayiga agambye nti;-

Entebe mwotuuziddwa si y'ekuwa ekitiibwa wabula enkola gyokolamu emirimu n'engeri gy'otuukirizaamu obuvunanyizibwa bwo.

Omwami amanya baatwala,Omwami tafuula bizibu luyimba, Omwami tasala gwakawala nga tanawulira gwakalenzi nga alina okuwulira kino n'owulira na Kiri nolyooka omanya bwosalawo.

Ekirala, omwami alina kuba munyikivu anti okukola tekutta. Obwami bukooya. Bwobeera tonakoowa kitegeeza nti byokola tebinawera, omwami takukuta ng'abeera mwerufu n'olwekyo omwami buli kintu akikolera mu musana.

Katikkiro ng'abuuza ku bantu

Katikkiro ng'abuuza ku bantu

"Omwami akola ne banne,atuuza enkiiko. Ate Omwami n'alondoola ebyo ebibeera bituukiddwako naye waliwo okutuuza enkiiko n'obutafaayo okulondoola ebyo ebibeera bituukiddwako, ogwo muzze gwa bulabe," Mayiga bwayogedde.

Katikkiro Mayiga ayongedde n'alambika abaami bano nti obukulembeze butambulira wamu n'okusomoozebwa n'olwekyo nga balina okubwetegekera.

Katikkiro nga bamwaniriza

Katikkiro nga bamwaniriza

Minisita Joseph Kawuki nga y'avunanyizibwa ku Abaganda ababeera ebweru wa Buganda asabye abaami okukolagana obulungi n'abakulembeze abalala mu bitundu gyebagenda okuwereeza ate n'abasaba okukunga abantu okwenyigira mu mirimu gy'Obwakabaka.
Omubaka wa Kabaka mu Ankole ne Kigezi, Hajj Hassan Mutaasa Kafeero yeebazizza Kabaka olw'okubalonda  wamu n'Omumyuka we okuwereeza Obwakabaka nga basinzira mu kitundu kino