Amawulire

Majembere ayingidde mu nsonga z'omugagga ayagala okusengula abasuubuzi mu katale ke Nateete

SSENTEBE wa NRM mu Lubaga Ivan Majambere Kamuntu Ssemakula,  ayingidde mu nsonga z'abasuubuzi b'akatale k'e Nateete abasula ku tebuukye olw’omugagga Shakka ayagala okubasengula, n’akangula eddoboozi nti tageza kuba abasuubuzi bangi tebetaaga kutataaganyizibwa.     

Majembere ng'ayogera eri abasuubuzi
By: Vivien Nakitende, Journalists @New Vision

SSENTEBE wa NRM mu Lubaga Ivan Majambere Kamuntu Ssemakula,  ayingidde mu nsonga z'abasuubuzi b'akatale k'e Nateete abasula ku tebuukye olw’omugagga Shakka ayagala okubasengula, n’akangula eddoboozi nti tageza kuba abasuubuzi bangi tebetaaga kutataaganyizibwa.

Abasuubuzi nga beegayirira Pulezidenti Museveni abagulire akatale baleme kubagoba

Abasuubuzi nga beegayirira Pulezidenti Museveni abagulire akatale baleme kubagoba

Ono alabudde omugagga Augustine  Shakka eyawadde abasuubuzi bano nsalesale wa nnaku 14 eziggwaako olw’okusatu lwa wiiki ejja, n’amutegeeza nti teyeetantala okuyingira akatale mbu afulumya abasuubuzi, neyeewera okufaafagana naye singa agezaako okubatataaganya naamusaba agenda abanje KCCA kubanga cabinet yaayisa dda ekiragiro nti, abanja abasuubuzi aweebwe ssente aleme okubatataaganya.

Majambere era alabudde abeeyita abagagga naye nga balinga ba bulooka abanoonya buli awali pulojekiti za gavumenti nebagulawo mu mankwetu nga baagala okuggya mu gavumenti ssente enyingi mu ngeri ya mancoolo, kyagambye nti kivumaganyisa gavumenti n'okujonoonera erinnya, nti ate bw’otunuulira embeera omugagga Shakka mweyagulira akatale kano era yeekuusaako eyo naalabula bonna abali mu ddiiru eno nti ejja kubalakira.

Sag 7

Sag 7


Majambere abadde yeetabye mu lukiiko lw'abasuubuzi  b'akatale k'e Nateete abatudde okusala entotto ku bbaluwa omugagga Shakka gyeyabawandiikira  ng'abawa nsalesale wa nnaku 14 okuva mu katale ye atandike okukozesa ekifo kye.
Ssentebe w'akatale Bonny Kabugo abuulidde abasuubuzi  engeri gyeyafunamu ebbaluwa ebagoba ku katale,  nti yaleetebwa looya w'omugagga Shakka ng'abawa ennaku 14 eziggwaako ku lw'okusatu lwa wiiki ejja okuba nga bavudde mu katale.
Ono ategeezezza nti minisita wa Kampala Hajat Minsa Kabanda,  yaayise abasuubuzi b’akatale kano bakiikirirwe abantu 3 bagende mu ofiisi ye babeeko byebatesaako ku nsonga z’akatel kaabwe ku lw’okubiri lwa wiiki ejja.
Abasuubuzi kino bakisambazze,  nebasaba minisita atuuke wansi mu katale boogeraganye naye butereevu bamubuulire ensonga zaabwe nga naye ekiri mu katale akirabako amaaso ge okusinga abantu abasatu okubakiikirira.
Baagamba nti,  tebajja kwesiga bantu basatu abo minisita baayagala okubakiikirira  kubanga omugagga ayinza okubayitamu nebabawaayo,  ng’ate bwebabeera abangi nebateeseza wamu kizibu okwesuula mu buzibu.

Akatale ke Nateete

Akatale ke Nateete


Balaajanidde pulezidenti Museveni abayambe atuukirize ekisuubizo kyeyabasuubiza okubagulira ettaka ly'akatale kano baleme okutawaanyizibwa kubanga kati bali ku bunkenke.
Abamu ku bakyala bategeezezza ng'abasajja bwebabasuulawo edda nga kati  bakolera mu katale okubeezaawo abaana n’okubaweerera ate abamu baagobeddwa ku nguudo nebayingira mu katale munda ate kati nayo babagobayo.
Omu ku basuubuzi b'akatale John Bosco Nyanzi ategeezezza nti, bali abasuubuzi abasoba mu 5000 ate kati beegattiddwaako ababadde ku nguudo abaagobeddwaako nebayingira munda,  nga nabo bangi,  n'ategeeza nti tebalina gyebagenda kudda singa bagobebwa,  neyeewera nti tebasobola kukkiriza kuva mu katale kano kubanga ka KCCA yeekavunaanyizibwako era yeeba egonjoola ensonga zaabwe.

Omugagga Augustine Shakka ng'alaga ebbaluwa gyeyawandiikira abasuubuzi

Omugagga Augustine Shakka ng'alaga ebbaluwa gyeyawandiikira abasuubuzi


Ssentebe Majambere yeewuunyizza KCCA evunaanyizibwa ku katale kano erina ne Market master akatwala obutakiikirirwa mu lukiiko lw’abasuubuzi,  kyagambye nti kikolwa kikyamu, n’agumya abasuubuzi nti kaayingidde mu nsonga zaabwe teri ayinza kubatataatganya,  naawa omugagga Shakka amagezi bwaba agamba nti yagula ettaka ly’akatale agende akabanje KCCA  yeesonyiwe abasuubuzi.
Ye omugagga Augustine Shakka  ategeezezza nti, ayagala ekifo kye nti era abasuubuzi banoonye mangu gyebalaga nga nsalesale gweyabawa tannaggwaako nti kubanga akooye gavumenti okumudingisa ku  kyeyasuubiza nti egenda kumusasula ettaka alirekere abasuubuzi, nti kati ayagala kukozesa kifo kye