Amawulire

Agambibwa okutigaatiga omwana ku Internet police emukutte

Poliisi ye Wakiso ekutte omusajja eyalabikidde ku mikutu gya internet  ng'atigatiga omwana omuwala ow'emyaka 8. Kigambibwa nti ekikolwa kino kyaliwo nga April 16, 2026, ku kyalo Mabombwe mu gomboloola ye Mende mu district ye Wakiso.

Ssebagala ng'ali ku police Wakiso
By: Sulaiman Mutebi, Journalists @New Vision

Poliisi ye Wakiso ekutte omusajja eyalabikidde ku mikutu gya internet  ng'atigatiga omwana omuwala ow'emyaka 8. Kigambibwa nti ekikolwa kino kyaliwo nga April 16, 2026, ku kyalo Mabombwe mu gomboloola ye Mende mu district ye Wakiso.
Omukwate ategerekeseeko nga Ssebaggala Moses, omugoba wa boda boda. Kigambibwa nti omwana yabadde ne mugandawe ku lugya olwo Ssebagala nabatukirira natandiika okubatigatiga. Kigambibwa nti yakwasiza omwana esimu alabye Katungi olwo namutiuza ku kisambi olwo natandiika okumusobyako. 
Omwogezi wa poliisi mu kampala n'emirwano Recheal Kawala agamba nti Poliisi evumirira ebikolwa bino. 
Akubirizza abazadde okufayo okulabirira abaana n'obutabaleka kumala gazanya n'abantu. Ssebagala akumirwa ku Poliisi ye wakiso ng'ekisera kyona atwalibwa mu kooti.