Amawulire

Poliisi ye Kiboga ekutte abantu 8 ababadde bafumbiza omwana atanneetuuka.

Poliisi ye Kiboga ekutte abantu 8 ababadde bafumbiza omwana atanetuuka.  Kigambibwa nti Poliisi ye Kiboga yafunye amawuliire nti waliwo omwana gwebagenda okufumbiza ku kyalo  Kagoga mu gomboloola ye Kyomya mu district ye Kiboga babadde bagala ku fumbizza mwana atanetuuka. Poliisi yatuse nekwata abantu 8 era nezula nti omuwala yabadde wa myaka +)16 nga muyizi ku somero lya Bukomero SSS mu senior 3.

Poliisi ye Kiboga ekutte abantu 8 ababadde bafumbiza omwana atanneetuuka.
By: Sulaiman Mutebi, Journalists @New Vision

Poliisi ye Kiboga ekutte abantu 8 ababadde bafumbiza omwana atanetuuka.

Kigambibwa nti Poliisi ye Kiboga yafunye amawuliire nti waliwo omwana gwebagenda okufumbiza ku kyalo  Kagoga mu gomboloola ye Kyomya mu district ye Kiboga babadde bagala ku fumbizza mwana atanetuuka. Poliisi yatuse nekwata abantu 8 era nezula nti omuwala yabadde wa myaka +)16 nga muyizi ku somero lya Bukomero SSS mu senior 3.

Okusinzira kupapula z'obuzaale ziraga nti omuwala yazalibwa  06/12/2010 nga bwobalamu kiraga nti omuwala Alina emyaka 16. Ebitabo bya bazadde okuli sukali, sabuni, muchere nyama gomesi 
ekanzu 2 ne birabo ebirala byakwatidwa biyambeko Poliisi mu kunonyerezza. 
Abakwate kuliko Kiyingi Yunus taata w'omugole,
Luwedde Robina maama w'omugole, 
Namubiru Allen Senga w'omugole, Nakibuuka Viola omugole, Kawuki Mathias omugole omusajja, Sande Walulya David taata w'omugole omusajja 
 Kafeero jacob ne Tusibira Esther maama w'omugole omusajja
Abakwate bakumirwa ku Poliisi ye Kiboga nga bwebalidirirwa okusindikibwa mu kooti.
 Omwogezi wa poliisi ye 
Wamala SSP Lameck Kigozi akubirizza abazadde okukomya okufumbizza abaana abatanetuka.