Amawulire

Ab'e Luzira beemulugunyizza ku batuuze abeebulankanya mu nkiiko ezirwanyisa obumenyi bw'amateeka

ABAKULEMBEZE mu Muluka gwe Luzira bakukkulumidde bannaabwe abebalama enkiiko z’ebyalo nti bebasibye obumenyi bw’amateeka mu kitundu gyebawangaalira kyokka oluva awo nga balaajana.

Stephen Sebuufu nga ayogerako eri abakulembeze be Luzira
By: Huzaima Kaweesa, Journalists @New Vision


ABAKULEMBEZE mu Muluka gwe Luzira bakukkulumidde bannaabwe abebalama enkiiko z’ebyalo nti bebasibye obumenyi bw’amateeka mu kitundu gyebawangaalira kyokka oluva awo nga balaajana.

Stephen Sebufu (mu yunifomu ya poliisi wakati) nga ayogera n'abamu ku bakulembeze be Luzira

Stephen Sebufu (mu yunifomu ya poliisi wakati) nga ayogera n'abamu ku bakulembeze be Luzira


Kino kiddiridde abamu ku bakulembeze mu Muluka guno okwebalama olukiiko olwayitiddwa ssentebe wa LC II mu Luzira Nalongo Monica Wanyama, nga lwabadde lulina okwetabwamu abakulembeze ab’enjawulo okutema empenda ku ngeri gyebanalwanyisaamu obumenyi bw’amateeka mu kitundu n’okukakasa nga ekitundu kyabwe kibeeramu emirembe.
Wanyama yemulugunyizza nti abamu ku bakulembeze besuuliddeyo ogwanaggamba ku nsonga z’ebyokwerinda nga berabidde nti buli eby’okwerinda lwebibeera ebinafu kizinngamya enkulakulana y’ekitundu.

Abamu ku bakulembeze abetabye mu lukiiko

Abamu ku bakulembeze abetabye mu lukiiko


Anokoddeyo ebitundu ebimu nga Agati zooni mu Luzira nga eno baali batugirayo omuvubuka nga waliwo n’omuwala eyakasimattuka okutemulwa ababbi abaali ku pikipiki nga ono baamunyakulako akasawo n’essimu ye nebagitwala.
Kyokka Wanyama akuutidde ab’amasomero naddala ago agalina ebisulo okufaayo okunyweza eby’okwerinda n’ategeeza nga abatemu abamu bwebetanidde okuyingirira amasomero nebagakolako efujjo ekiteeka obulamu bw’abayizi mu katyabaga.
Asabye abatuuze okumanya nti eby’okwerinda tebirina kufiibwako kiro wokka nga kati ababbi batigomeza ddal bantu nemubudde bw’emisana.
Atwala eby’okwerinda mu Muluka gwe Luzira, Swaleh Mugisha yategezezza nga okuddirira kw’ebyokwerinda bwekuva ku b’ebyokwerinda ku byalo okuba nga tebakyalabika nga tebanyi nakumanya oba bakyalimu mu kitundu oba baasenguka.

Ssentebe wa Kisenyi III e Luzira Muhammad Kayiira nga ayogera

Ssentebe wa Kisenyi III e Luzira Muhammad Kayiira nga ayogera


Yategezezza nga ababbi abatigomya abantu bwebalimu ebika eby’enjawulo nga muno mulimu abanyakula obusawo, ababba amasimu kw’ossa n’abo abayingirira amayumba g’abantu. 
Asabye ab’ebyokwerinda n’abakulembeze okuddamu okuttukiza enkolagana yabwe kibayambeko okunywereza awamu eby’okwerinda n’okutereeza ekitundu.
 Stephen Sebufu eyakiikiridde atwala poliisi ye Kitintale, yasabyea abantu okukimanya nti eby’okwerinda bisookera ku bon ga buli omu alina okubeera mbega wa munne mu kutereeza ekitundu.