ABANTU ababadde bakolera ku makubo mu bitundu by’eKyengera okuli,Buddo,Nsangi,Kitemu,Namagoma n’ebilala gebakaaba gebakomba oluvannyuma lw’obuyumba bwabwe okusengulwa ne basigala ttayo.
Obuyumba nga bumenyeddwa
Bano bagamba nti ekikolwa ekyakoleddwa tekyabaadde kilungi nti tebaawereddwa budde bumala kweteekateeka webayanza okuteeka eby’amaguzi byabwe.
Enteekateeka y’okusengula abantu bano ku makubo yazingiddemu n’ababadde bakolera mu katale ka Kyengera Central oluvannyuma lw’okubagobamu era nga nabo mu kiseera kino basattira.
Abamu basoose kuwalira nga bagamba nti tebasobola kuva mu bifo bino kuba tebalina waakudda wabula poliisi ye Kyengera yabyennyigiddemu era nga yezoobye nabo okutuusa we baapondose olwo omulimu gw’okubasengula negugenda mu maaso.

Ekimotoka kiweetiiye nga kimenya obuyumba
Omu ku baakoseddwa,John Muwanga yategeezezza nti gavumenti ekikolwa ky’okubagoba ku makubo tekyalibadde kibi nti naye ekizibu tebaawereddwa budde bumala kutekeretekera gyebazza bizinensi zaabwe bw’atyo n’asaba wabeewo ekikolebwa kuba abantu bangi baasigadde mu bbanga.
Sipiika wa Kyengera Town Council,Joseph Nsubuga yategeezezza nti ekizibu ky’alaba mu kusengulwa kw’abantu ku makubo nti obumenyi bw’amateeka bugenda kweyongera kuba abavubuka bangi ababadde betetenkanyiza mu kutundu ebintu byaabwe mu bu kiyosiki ezagyiddwa ku makubo nti nga kati mu kiseera kino tebalina kyebazaako.
Wabula ye akulira eby’ekikugu ku Kyengera Town Council wiiki ewedde yasoose kusisinkana abamu ku bantu bano n’abategeeza nga bwebalina okugondola enteekateeka eno kuba yagendereddwamu kutereeza bintu bye Kyengera nti era nga tebagenda kuttira muntu yenna kuliiso alowooza nti agenda kugigyemera.

Abasuubuzi nga batubnula binsobedde oluvannyuma lw'okubamenyera obuyumba
Ono yabawadde amagezi okusengula obuyumba byaabwe ng’obudde bukyali bafune gyebabuzza nga ziwetiiye tezinnabwonoona.
Sentebe w’akatale ka Kyengera Central akaasendeddwa Livingstone Ssekabira yategeezezza nti abakulu okuva ku Town Council ye Kyengera baamutuukiridde ne bamutegeeza nti ekigendererwa kyabwe si kyakugoba bantu mu katale nti wabula baagala ku katereeza n’oluvannyuma abasuubuzi baddemu okukakoleramu nga kamulembe.