Amawulire

Abalungamya omuzannyo gwa zzaala mu ggwanga bakoze ekikwekweto ne bayoola ebyuma by'azaala ebikola mu bukyamu

AB’EKITONGOLE ekivunanyizibwa ku lunngamya omuzannyo gwa Zaala aba National Lotteries and Gaming Reguratory Board nga bali wamu n’abyebyokwerinda bakoze ekikwekweto mu bitundu bya Kampala ne bayoola ebyuma byonna ebitalina lukusa kw’ossa n’okufuuza ebifo byonna webakolera ebyuma bino.   

Ebimu ku byuma ebyakwatiddwa nga batikiddwa ku kabangali
By: Huzaima Kaweesa, Journalists @New Vision

AB’EKITONGOLE ekivunanyizibwa ku lunngamya omuzannyo gwa Zaala aba National Lotteries and Gaming Reguratory Board nga bali wamu n’abyebyokwerinda bakoze ekikwekweto mu bitundu bya Kampala nebayoola ebyuma byonna ebitalina lukusa kw’ossa n’okufuuza ebifo byonna webakolera ebyuma bino.

Ebimu ku byuma ebyakwatiddwa nga bitikiddwa ku kabangali

Ebimu ku byuma ebyakwatiddwa nga bitikiddwa ku kabangali


Ebikwekweto bino biyindidde mu bitundu bya Lubaga okubadde Lungujja-Kikandwa ne Kakeeka n’ebitundu ebirinaanyewo mu kikwekweto kyebaatumye Mashine Haram ekigendereddwamu okuggya ebyuma ebitalina lukusa ku katale.
Akulira eby’amawulire mu kitongole kino, Jackie Kamakune yategezezza nti nga bayita mu tteeka erirunngamya omuzannyo guno balina okuwa buli kyuma ekiri ku katale olukusa oluvannyuma lw’okukyekenenya ne bakakasiza ddala nga kituukana n’omutindo.
Kamakune ategeezezza nti ekigendererwa kyabwe kyakukakasa nga bataasa abantu ku bulabe obuli mu byuma bino ebitali ku mutindo.
Agamba nti etteeka libakkiriza okuwamba ebyuma byonna era n’abo abenyigira mu nkozesa y’ebyuma bino babeera bazizza musango nga singa bakwatibwa batwalibwa mu kkooti ne, bavunaanibwa.

Ekimu ku bifo webabadde bakyusiza ebyuma bya zaala

Ekimu ku bifo webabadde bakyusiza ebyuma bya zaala


Kamakune agamba nti obuzibu obukyali ku kulondoola ebyuma bino buva ku kubnga nga bwebaba bayingiza ebyuma bino bijja nga ebigenda okukozesebwa mu kukanika komyuta kyokka ate olutuuka wano nga babitwala mu mabajjiro nga babikyusa nebifuukamu ebya zaala.
Ategezezza nti omuntu yenna ayagala okukola omulimu guno mu mateeka asaanidde kusooka okubatuukirira nebamwekeneenya bulungi kw’ossa n’ebyuma bye by’ayagala okukozesa n’oluvannyuma n’afuna olukusa okukola omulimu guno.
Ebikwekweto bino bikyagendera ddala mu maaso okutuusa nga abantu abakola omulimu guno mu bumenyi bw’amateeka bakwatiddwa nga n’ebyuma ebitali ku mutindo bigyiddwawo.
Ebyuma ebyakwatiddwa byatwaliddwa ab’ekitongole okwongera okubyekeneenya n’oluvannyuma bijja kusaanyizibwawo nga etteeka bwerirambika.