Amawulire

Abagambibwa okufumita omuvuzi wa Boda-Boda ebiso bakwatiddwa poliisi e Naggalamaa

ABAVUBUKA babiri abagambibwa okugezaako okubba bodaboda bwe bafumise egivuga ebiso, bakwatiddwa poliisi e Naggalama.

Abagambibwa okufumita omuvuzi wa Boda-Boda ebiso bakwatiddwa poliisi e Naggalamaa
By: Godfrey Kigobero, Journalists @New Vision

ABAVUBUKA babiri abagambibwa okugezaako okubba bodaboda bwe bafumise egivuga ebiso, bakwatiddwa poliisi e Naggalama.

Bibadde Kakoola mu Kalagi e Kasawo, abavubuka babiri bwe bafumbikirizza omuvuzi wa bodaboda ne bamufumita ebiso nga bagezaako okumuggyako pikipiki nti kyokka ne babakwata.

Omwogezi wa poliisi mu Kampala Recheal Kawala, ategeezezza nti babadde basatu omulala adduse era bamuyigga.

Ate era poliisi e Kasangati eriko ababbi beesuzizza ente bbiri mu bitundu by'e Luwunga Busukuma.

Kawala agasseeko nti babiri bakwatiddwa ng'okubuuliriza kugenda mu maaso.