Amawulire

Poliisi eyodde abateeberezebwa okubeera ababbi ba Piki-piki ku Muganzirwazza e Katwe

Poliisi nge'ddumira DPC we Katwe Innocent Mubangizi nga bali wamu n'ekitongole kya Crime intelligence ekya KMP nga kidduumira Julius Isabirye basiibye ku Muganzirwaza nga banonnya piki-piki eziteberezembwa okuba ezimbe.

Poliisi ng'ekutte sipeeya wa Piki-Piki e Katwe agambibwa okubeera okuva mu piki-piki enzibe
By: Martin Kizza, Journalist @New Vision

Poliisi nge'ddumira DPC we Katwe Innocent Mubangizi nga bali wamu n'ekitongole kya Crime intelligence ekya KMP nga kidduumira Julius Isabirye basiibye ku Muganzirwaza nga banonnya piki-piki eziteberezembwa okuba ezimbe.

Aba Poliisi nga bekebejja ebyuma bya Piki-Piki

Aba Poliisi nga bekebejja ebyuma bya Piki-Piki

Ekifo kino kyasaliddwako ku Ssawa 10 ng'obudde bukya abakozi abakolerawo bagenze okutuuka nga tewali webayisa kigere olwo olwabasirikale abaabadde basazeeko ekifo.

Ab'ebyokwerinda okukola ekikwekwto mu kifo kino kyaddirira ababbi okutemula oa Boda ne bamubbako Piki-piki wabula akuuma akalondoola ne batwala mu kifo kino. 

Aby'ebyokwerinda nga bekenneenya ebyuma bya Piki-Piki

Aby'ebyokwerinda nga bekenneenya ebyuma bya Piki-Piki

Poliisi yasazeewo okuggala ekifo okutuusa kkooti bweyabawa olukusa okuggulawo amaduuka era olwagguddewo ne bazuula ebizibiti bya Piki-piki enzibe ssaako sipeeya waazo omutemeeteme.

Ebyuma bya Piki-piki

Ebyuma bya Piki-piki

Mu kikwekweto kino Poliisi ezudde number plate ezibadde  zasulimbwa mu kabuyonjo nga n'ezimu zawanikibwa wagulu mu sirigi, Number Plate zigyiddwayo era nga spare asagiddwa mu kifo kino atwaliddwa ku poliisi ye Katwe.
Era wano poliisi esabye buli omu eyabimbwako pikipiki ye okugenda ku poliisi ye Katwe okusobola okulaba pikipiki zaabwe.

Aba Poliisi nga batuuka e Katwe

Aba Poliisi nga batuuka e Katwe

Omwogezi wa pollisi mu Kampala ne miliraano Reachel Kawala ategeezezza nti bakwata abantu 29,era nga bano babayambyeko okugenda okwaza ekifo kino mwebazulidde number plate ne spare wa pikipiki ezitemberezebwa okuba ezimbe