Amawulire

Abakulembeze b'abasuubuzi bakukkulumidde Gv't

ABAKULEMBEZE b'abasuubuzi okwetoloola Uganda yonna balaze obutali bumativu ku ngeri Gv't gyekuttemu ensonga z'abasuubuzi okutuusa okugoba ku nguudo n'okuwamba ebintu byabwe.

Abasuubuzi nga bali mu lukiiko n'abakulembeze
By: David Lukiza, Journalist @New Vision

ABAKULEMBEZE b'abasuubuzi okwetoloola Uganda yonna balaze obutali bumativu ku ngeri Gv't gyekuttemu ensonga z'abasuubuzi okutuusa okugoba ku nguudo n'okuwamba ebintu byabwe.

Ensisikano y'abasuubuzi

Ensisikano y'abasuubuzi

Bano nga bakulembeddwamu Pulezidenti w'abasubuuzi wansi w'ekibiina ekigatta abasuubuzi ki FUTA John Kabanda  bwebabade  mu nsisinkano n'omutesitesi wa ministule ya local gavumenti Ben Kumumanya nga basaba enkola eyokutekeratekera ebibuga esooke eyimiriremu.

Omukulembeze wa FUTA Kabanda ng'ali mu lukiiko

Omukulembeze wa FUTA Kabanda ng'ali mu lukiiko

Wabula ye omutesitesi wa ministule ya gavumenti z'ebitundu Benjamin Kumumanya agamba nti gavumenti ekola buli ekisoboka okubazimbira obutale ssaako n'okubabangula ku nkola ya Trade order okulaba nga ebibuga bitukana n'omutindo gwe bibuga ebirala ebweru w'eggwanga.