Amawulire

Abatuuze mu Hospital Zone e Butabika baguddemu eky'enkago oluvannyuma lw'okusanga omuntu ng'afiiridde mu nnyumba

Abatuuze mu Hospital Zone e Butabika baguddemu eky'enkago oluvannyuma lw'okusanga omuntu ng'afiiridde mu nnyumba 

Omulambo gwa Tumubwine nga gutwalibwa mu gwanika e Mulago
By: Huzaima Kaweesa, Journalist @New Vision

ABATUUZE mu Hospital Village e Butabika baguddemu ekikangabwa oluvannyum lw’okusanga mutuuze munnaabwe nga yafiira mu nyumba bw’abadde asula yekka.
Sulaiman Tumubwine Kasigazi y’asangiddwa nga yafiira mu nnyumba oluvannyuma lw’okumala ennaku eziwerako nga talabikako nga abatuuze baasemba okumulabako ku lw’okutaano lwa wiiki ewedde.

Abatuuze nga bali ewa Tumubwine weyafiiridde

Abatuuze nga bali ewa Tumubwine weyafiiridde


Mutabani w’omugenzi, Saidi Byaruhanga yategezezza nti taata we yali yayawukana ne maama wabwe nga ekiseera kyatuuka n’abaana nebava ewaka  okugenda okuyiiya obulamu olwo nebamuleka mu nnyumba nga abeeramu yekka.
Yategezezza nti, Tumubwine yali muvuzi wa boda boda kyokka n’afuna obuzibu ababbi bwebaamukuba akatayimbwa  nebatwala piki ye nga kino kyamuviirako okusannyalala nga abadde takyesobola bulungi.
Byaruhanga ategezezza nti babadde bagera ekiseera nebajja nebamulambulako era nebamuleetera n’obuyambi bwebabeera basobodde nga baalabidde awo nga babategeeza nga taata wabwe bweyafiiridde mu nnyumba.
Amyuka ssentebe wa Mutungo zooni IV, ewaliranye omugenzi w’afiiridde ategezezza Tumubwine bw’abadde omutuuze omulungi ate nga ayagala nnyo eby’obufuzi wadde abadde takyesobola bulungi.

Ab'ebyokwerinda nga bekebejja ekifo Tumubwine weyafiiridde

Ab'ebyokwerinda nga bekebejja ekifo Tumubwine weyafiiridde


Kyokka asabye abantu bulijjo buli omu okufaayo ku mbeera za baliraanwa baabwe zebalimu kubanga singa ono abadde yalabibwa mangu nga afunye obuzibu osanga yanditaasiddwa.
Kyokka yennyamidde olw’abantu abamu abakweka gyebava kubanga ono tewali abadde amanyi waabwe nga n’abaana be tebamanyiyo ky’agamba nti kino kireetawo okusomoozebwa nga bafunye obuzibu.
Oluvannyuma Poliisi okuva e Mutungo ezze n’eggyawo omulambo negutwalibwa mu ggwanika e Mulago okwongera okwekeejjebwa okuzuula ekituufu ekyamuviriddeko okufa.