Amawulire

Omusolo gw'amayumba gusattizza abe Banda

ABATUUZE be Banda B1 mu munisipaali ye Nakawa basattira olw’omusolo gw’amayumba ogwabagerekebwa gwebagamba nti tegukwatagana n’amayumba gebalina nga baagala baddemu babagerekere bupya.

Avunanyizibwa ku by'emisolo mu Nakawa, Henry Bukenya nga ayogera mu lukiiko
By: Huzaima Kaweesa, Journalist @New Vision

ABATUUZE be Banda B1 mu munisipaali ye Nakawa basattira olw’omusolo gw’amayumba ogwabagerekebwa gwebagamba nti tegukwatagana n’amayumba gebalina nga baagala baddemu babagerekere bupya.
Okutya kuno, abatuuze bakulagidde mu lukiiko olwayitiddwa abakulembeze b’ekitundu nga bakulembeddwamu Kansala Ismail Mukoiko ne Ssentebe w’ekitundu Joseph Oloya nga lwetabiddwamu n’akulira eby’omusolo mu Nakawa Henry Bukenya.

Avunanyizibwa ku misolo mu Nakawa, Henry Bukenya nga ayogera mu lukiiko

Avunanyizibwa ku misolo mu Nakawa, Henry Bukenya nga ayogera mu lukiiko


Kansala Ismail Mukoiko ategezezza nga bw’abadde mu kattu olw’abatuuze okumubanjanga okubabuulira eby’agobereddwa nga bagereka emisolo kubanga abantu abamu baabataddeko amayumba agatali gaabwe nga n’ezimu ku nnyumba ezisulwa zateereddwako omusolo.
Agamba embeera y’akazito okuva mu batuuze y’emuwalirizza okuyita bekikwatako babanyonnyole n’okuzuulira ddala obuzibu webuva bugonjoolwe.
Mukoiko ategezezza nti abatuuze be bulijjo tebamanyi nsonga lwaki kikulu okusasula omusolo nga mukakafu nti ku mulundi guno kebategedde bagenda kutandika okuguwa.
Kyokka awanjagidde abawooza b’omusolo okubeera abegendereza nga bakola omulimu gwabwe kubanga mu kitundu kyabwe abantu abamu bateekebwako sente nga ennyumba si zaabwe.
Abasabye bakomewo baddemu bagereke omusolo mu butuufu bwagwo okwewala okubeerako oludda lwonna olunyigirizibwa.
Susan Laker omutuuze mu kitundu kino asanyukidde abawooza b’omusolo okuvaayo nebabanyonnyola kyokka n’abasaba okugenda mu maaso nga basomesa abantu bamanye obulungi bw’okuwa omusolo.
Ssentebe wa Banda B1, Joseph Oloya yategezezza nga ezimu ku nnyumba mu kitundu kino bwezateekebwako omusolo mu mannya g’abantu abaazitunda edda nga kino Kireka abaazigula mu banga nga tebamanyi wakusasula nga ate ebanja likula.

Abamu ku batuuze abetabye mu lukiiko

Abamu ku batuuze abetabye mu lukiiko


Asabye abawooza okuddamu okwetegereza amayumba gonna mu kitundu kubanga kati agamu gaali gapangisibwa nga kati gasulwamu nga n’agaali gasulwamu gapangisibwa nga kino kitegeeza nti balina okukyusa engereka yaazo.
Ategezezza nti tebawakanya ntekateeka ya Gavumenti ey’okuwa omusolo wabula baagala byonna ebikolebwa buli omu abeere mumativu ku bungi bw’omusolo gw’asasula.
Akulira eby’emisolo mu Nakawa, Henry Bukenya akkirizza nti wayinza okuba nga waliwo ebyalumira mu ngereka y’omusolo n’asaba abalina okwemulugunya ku nsimbi ezabateekebwako okuddukira gyebali n’obukakafu ensonga zaabwe zijja kugonjoolwa.
Oluvannyuma asomesezza abatuuze obulungi bw’okuwa omusolo n’abategeeza nti sente zino wadde zibaggyibwako naye zisigala zaabwe kubanga zezikozesebwa mu kukola ku nsonga zaabwe omuli okulima enguudo, okuyoola kasasiro, okusasula abakulembeze babwe n’ebirala eby’enkulakulana.