Amawulire

Asangiddwa n'eccupa ya Petulooli n'ekibiriiti asimattuse okuganjabulwa

Asangiddwa n'eccupa ya Petulooli n'ekibiriiti asimattuse okuganjabulwa

Omuvubuka ng'akutte ekibiriiti n'eccupa ya Petulooli
By: Kiragga Steven, Journalist @New Vision
OMUVUBUKA agambibwa okusangibwa n'akacupa ka petulooli ne kibiriiti asimatuse okugajambulwa abatuuze b'e Kazo mu munisipaali ye Nansana ababadde bamuteebereza okwenyigira mu bikolwa by'obumenyi bwa mateeka.
 
Rayhan 17 yasangiddwa nga ayambadde ebyambalo ebyefananyiriza eby'amagye nga wano RDC wa Nansana Charles Lwanga wamwekengeredde era abasirikale bagenze okumwaza nga mu nsawo alinamu akacupa ka petulooli ne kibiriiti.
 
ono mu kumukunya yegaanye okubeera omumenyi w'amateeka n'ategeeza nti ebyambalo bya waluganda lwe akola be bitongole by'okwerinda.
RDC Lwanga wakati ng'akunya omuvubuka

RDC Lwanga wakati ng'akunya omuvubuka

 
ssabwe yawakanyizza ebibadde byogerwa abatuuze nti abadde aliko gyagenda okukola obulumbaganyi n'ategeeza nga amafuta bwegali aga piki-piki ate ekibiriiti nti yakyelabidde munsawo bweyabadde avva kunywa kunjaga okukakana emeeme.
 
ono oluvanyuma atwaliddwa poliisi okwongera okunonyereza bazuule ekituufu n'ekigendererwa kye okutambula na mafuta.
 
RDC Lwanga wano wasinzidde n'awera okuttukizza ebikwekweto okufuuza abantu bonna abalina ebyambalo ebyefananyiriza ebya'amagye kuba kimenya mateeka okubeera nabyo bwatyo n'akutiira abazadde okufaayo okukuza abaana nga balina empisa okwewala okugwa mu butyabaga obwenjawulo