SSAABASAJJA Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II asiimye musajja we Dr Grace Seruyange ng'ono ye mumyuka wa ssebwana asooka olw'omulimu gwakoze mu kutumbula ebyobulamu ne mu byobujjanjabi naddala mu bavubuka mu Buganda
Kabaka obubaka bwe buno asiimye n'abutiika katikkiro Charles Peter Mayiga bwabadde ku ttendekero lyamusajja we ono eritendeka abasawo erisangibwa e Maya bwabadde atikkira abayizi abakuguse mu Busawo era nga kabaka yasiimye ekizimbe ekipya mu tendekero lino kinubulwemu

Dr Grace ng'ayaniriza Katikkiro
Omukolo gw'okutikira abayizi abakuguse obusawo ku ttendekero ly'abasawo ely'omwami wa kabaka omumyuka wa Sebwana asooka Dr Rotarian Grace Seruyange ogubadde ku ttendekero lino e May's gusoose na kuggulawo ekizimbe kabaka kyeyasimye kibbulwemu erinnya lye nga guno gukoleedwa katikkiro wa Buganda charles Peter Mayiga .
Oluvanyuma wabaddewo ekitambiro Kya Misa nga kino kikulembeddwamu Musinyo Lawrence Semusu era nga ono mu kubuulirakwe Akuburiza Abayizi abatikiddwa okubeera abetowaze ennyo nga balabirira abalwadde be bajanjaba
Mu bubaka bwa ssabasajja Kabaka bwattise katikkiro Charles peter Mayiga ssabasajja kabaka Ronald Muwenda Mutebi II Asiimye mmusajja we Dr Grace Steven sseruyange olwomulimu gwakoze mukutumbula ebyobulamu ne mubyobujanjabi naddala mu bavubuka mu Buganda

Abaana abatendekeddwa okusoma obusawo
Maaso Moogi era asiimye Musajja we ono Dr Seruyange olw'okutandikawo ettendekero eriyambye okubangula n'okufulumya abasawo abakugu ebayambye okutaasa obulamu Bwa bannauyuganda era nasiibye ne kizimbe ekibbuddwa mulinya lye Kabaka Muwenda Mutebi II complex
Mu bubaka bwe Katikkiro Charles Peter Mayiga asabye Abayizi bonna abatikiddwa okukozesa obukugu bwebafunye n'obumanyirivu basobole okutuukiriza okuyitibwa kwabwe
Dr Grace Steven sseruyange omumyuka asooka owa Ssebwana era nga ye mutandisi wetendekero lino agambye nti ebbula ly'abasawo abakugu mu by'obulamu mu ggwanga lyatu uganda lyelyamuwaliriza okutandikawo ettendekero lino asobole okufulumya abakugu abasobola okuggyanjaba nokubuudabuda Bana Uganda mu ndwadde ezenjawulo

Katikkiro nga bamulambuza ekizimbe
Minisita wa kabaka avunanyizibwa ku lukiiko abagenyi ne Kabineti owek Noah Kuyimba nga yakikiridde Minisita webyenjigiriza ne byobulamu mu bwakabaka oweek Cotilda Nakate kikomeko ategeezezza nti nga ministry yebyobulamu mu bwakabaka benyumiriza nnyo mu tendekero lino olw'obuwagizi bwebawa obwakabaka mu by'obulamu naddala mu nsisira zebyobulamu ezitegekebwa obwakabaka
Abayizi abasobye mu 700 bebatikiddwa mu bukugu obwenjawulo okuli,abazaalisa,abajanjaba amanyo,abakuuma ebiwandiiko byamalwaliro,abakebera omusaayi,Abayambako mukujanjaba,abatabuzi bedagala n'abalala era nga bano batikiddwa mu satifiketi ne Diploma