POLIISI ezinzeeko omuzigo e Kijjabijjo mu munisipaali ye Kira ne kwata abasajja babiri abagambibwa okwenyigira mu kubba biki-piki ne bazitwala ne bazitema sipeeya ne bamutunda.
Ebyuma bya Piki-piki ebyasangidwa mu muzigo
Bino byabaddewo ku Lwokubiri abaserikale okuva ku poliisi ye Kasangati ne Kijabijjo bwebazinzeeko omuzigo oluvanyuma nókutemezebwako abatuuze nga bwebalaba piki-piki eziyingizibwa mu muzigo guno olutatadde kyokka ne battadamu kuziraba nga zifulumizibwa.
Omwogezi wa poliisi mu Kampala némirirwano Racheal Kawala yagambye nti abatuuze abatemezza ku poliisi nti okuva mu mwezi gwa January 2026 e Kijabijjo abavubuka Deo Kapeke ne Jackson Matovu babadde balabibwa enfunda eziwera.
Yagambye nti ebikolwa bino ebibadde bikolebwa mu muzigo guno byaviriddeko abatuuze okubekengera kuba bibadde bikolebwa mu nkukutu ate nga bikolebwa kiro kuba mwebabadde basula ate nga era ekola nga galagi.