Amawulire

Bwanamuku wa St Jude Kalungu ajjukizza abagagga obutasuulirira Katonda

BWANNAMUKULU w'ekigo kya St Jude Lukaya mu Kalungu Rev Fr Henry Kiganda ajjukizza abantu abayivu n'abagagga obuteesulubabba Katonda abatuusa ku buwanguzi obwo ne batawaayo kadde kumwebazaako.   Fr Kiganda agambye nti abantu bangi beegayirira Katonda okubatuusa ku birungi naye olubifuna ng'ekkubo eryabatuusanga mu masinzizo nga balisuulamu emisanvu.

Omujaguza Peter Kiwanuka n'abafamire oluvannyuma lw'okwetaba mu kitambiro kya Mmisa ey'okwebaza Katonda okumuwanguza diguli
By: Ssennabulya Baagalayina, Journalists @New Vision

BWANNAMUKULU w'ekigo kya St Jude Lukaya mu Kalungu Rev Fr Henry Kiganda ajjukizza abantu abayivu n'abagagga obuteesulubabba Katonda abatuusa ku buwanguzi obwo ne batawaayo kadde kumwebazaako.
   Fr Kiganda agambye nti abantu bangi beegayirira Katonda okubatuusa ku birungi naye olubifuna ng'ekkubo eryabatuusanga mu masinzizo nga balisuulamu emisanvu.

St 3(1)

St 3(1)


   Bino Fr Kiganda abyatulidde abeetabye mu Mmisa ey'enjawulo gy'ayimbye olw'okusabira Peter Kiwanuka atutteyo okwebaza Katonda eyamusobozesezza okutikirwa diguli mu kubala ebitavo mu Yunivasite e Kyambogo.
      Fr Kiganda ajjukizza nti banne ba Kiwanuka bangi n'abalala abatikiddwa mu Yunivasite ezitali zimu ng'olwatikiddwa bazizaako bubaga bwa kwekulisa ne basula nga babinuka.
   N'agamba nti bwe guli ne ku bagagga ng'abangi beesigulira mu bugagga bwabwe ng'okuwaayo akadde ne beebaza Katonda tebakulabamu mugaso.
   Wano Fr Kiganda yebazizza Kiwanuka n'abamufanaganyizza endowooza nti bakoze bulungi okwebaza Katonda abasobozesezza okuwangula emisomo kuba era waliyo bangi bwe baatandika nabo okusoma abatakugusizza.
    Kiwanuka awaddeyo ebirabo n'oluvannyuma Fr Kiganda abatizza Omwana we n'amuyingiza mu kisibo kya Kristo.