Bino Mutabaazi abyogedde alaga engeri gye yazuulamu ekitone kya mutabani we Fresh Kid ng’amannya ge amatuufu ye Patrick Ssennyonjo 11 ng’ono agamba nti okuva mu buto yali mukujjukujju ng’ayagala nnyo okuyimba so nga agenda okufuuka ow’amaanyi.
Ono agamba nti bwe baali bakyali Luweero nga Fresh Kid wa myaka musanvu, yageegeenyanga nnyo ennyimba z’abayimbi ab’enjawulo ng’ayimba ennyimba z’abayimbi abalala ng’oyinza okugamba zize.
Fresh Kid8
Ono yayimba nga nnyo ennyimba za Fik Fameica era omuyimbi ono bwe yajja e Luweero, obukujjukujju bwa Fresh Kid bw'amuyamba okusaba omuzindaalo ku siteegi y'emu ne Fik era okuva olwo teyadda mabega.
Wano ne maneja Francis we yajjira ne bakwatagana n’omuyimbi eyali atumbuka okutuuka olwaleero ku muyimbi ow’erinnya gwe mumanyi kati.
Ono afunye ebirungi bingi mu kitone era Mutabaazi n’asaba abazadde okuwagira abaana baabwe abalina ebitone eby’enjawulo kubanga bisobola okubatuusa ku birungi bingi mu nsi.