Bya Paul Galiwango
Omukulu w'essomero lya St. Luke Nursery and Primary School Kanyanya, Carol Namaganda Lukyamuzi atenderezza Kkampuni ya Vision Group naddala olupapula lwa Bukedde olw'okulwanirira okukuuma olulimi Oluganda nga lutuusa obubaka eri omuntu wa wansi.
Namaganda okwogera bino yasinzidde mu kusaba kw'okwebaza olw'abayizi abaatuula ebigezo eby'ekibiina eky'omusanvu ku ssomero lya St. Luke Nursery and Primary School Kanyanya olw'okuyitira waggulu ebigezo byabwe, n'ategeeza nti Bukedde ekola ky'amaanyi okutuusa obubaka eri omuntu wa wansi ng'eyita mu nteekateeka zaayo ez'enjawulo mw'esomeseza abantu ku nsonga ez'enjawulo.

Omubuulizi Micheal Kigozi Ng'asabira Abayizi Abagenda Okuddayo Ku Ssomero
Namaganda yategeezezza nti olupapula lwa Bukedde balwesigamako olw'abakugu abasengeka ebibuuzo ebirufulumiramu eri abayizi ba pulayimale n'ategeeza nti kibayambye ky'amaanyi abayizi baabwe okuyitiranga waggulu.
Namaganda yategeezezza nti ku bayizi 41 abatuula ebigezo byabwe ebyakamalirizo eby'ekibiina ekyomusanvu 20 kubo baayitidde mu ddaala erisooka ate 21 ne bayitira mu ddaala eryokubiri ne yeebaza abakulira Bukedde abazadde ssaako n'abasomesa olw'okusomesa abaana b'eggwanga.
Omubuulizi w'Ekkanisa ya St. Luke C.O.U Micheal Kigozi yakalaatidde abayizi abagenda mu siniya bulijjo okunywerera ku Katonda n'okugenda mu maaso okweyisa obulungi nga batambulira mu mpisa ezibalambikiddwa abasomesa baabwe.
Kigozi yatenderezza emikutu gya kkampuni ya Vision Group naddala Bukedde olupapula olw'ebiyigiriza eby'enjawulo ebirufulumira ky'agambye nti bikola ky'amaanyi okusomesa abantu.
Esther Kasule, omutandisi w'essomero lino yakubirizza abazadde okwogera kaati eri abaana babwe naddala mu kaseera kano ng'omulabe sitani asensedde buli wamu n'abasaba okwekeneenya amasomero gye batwala abaana baabwe wamu ne bbasale.
Kasule yakalaatidde abayizi bulijjo okukwananga emikwano eginaabayambanga mu maaso era beewale okuswaza abasesa wamu ne bazadde baabwe nga babeera babuvunaanyizibwa era basigale nga bakolagana.
Angel Nasaazi eyasukkulumye ku banne n'obubonero 8 yategeezezza nti awaka bazadde be babadde nga bamugulira olupapula lwa Bukedde ky'agambye nti kye kimu ku byamuyambye okuyitira waggulu.