OMUMYUKA wa Pulezidenti wa Uganda, Jesca Alupo asabye bannamawulire mu ggwanga okulondoola enteekateeka za gavumenti ezigenderera okutuusa obuweereeza eri bannansi okulaba nga zituukiriza bulungi obuvunanyizibwa bwazo.
Enteekateeka zino kuliko eya Bonnabasome,ez’ebyobulamu naddala okulondoola eddagala eriteekebwa mu malwaliro,okulwanyisa enguzi,amazzi,obutondebwensi,entumbula y’eddembe ly’obuntu nga kino kyakuyamba okutumbula enkulaakulana.
Abamu ku bannamawulire abazze mu musomo
Okusaba kuno Maj.Rtd. Alupo akukoze aggulawo omusomo gw’okubangula Bannamawulire ku kwesitula n’enneekulakulanya ogugenda okukulungula ennaku mukaaga nga gubumbujjira ku yunivaiste e Kyambogo mu Kampala olwaleero.
Agambye nti Bannamawulire balina obuvunanyizibwa mu kuzimba eggwanga bwatyo n’abasaba okukwatagana ne gavumenti ya Uganda okukyusa endowooza y’abantu ku nkulakulana.
Bannamawulire nga bali mu musomo e Kyambogo
Ku ky’okutyoboola eddembe lya Bannamawulire, Alupo ategezezza nga gavumenti bwevumirira bonna abatyoboola eddembe lyaabwe bwatyo n’abakungaokubeera abavumu okulopanga abo abayisa obubi Bannamawulire baayogeddeko nga Bannamukago baayo mu nkulakulana.
“Gavumenti ya Uganda yeyama okukolagana ne Bannamawulire ba Uganda okuleetawo enkyukakyuka y’enkulakulana y’ensi yaffe.N’olwekyo gavumenti ebayita mwe Bannamawulire ng’abatuuze ba Uganda,okubeera bannamukago abakolagana nayo mu kutuusa obubaka bw’enkulakulana eri buli muntu,” Alupo bweyagambye.
Pulezidenti w'abannamawulire Mathias Rukundo ng'aliko by'wandiika mu musomo gw'abannamawulire
Omusomo guno gwatekeddwa ekibiina ekitaba Bannamawulire ki Uganda Journalists Association ekikulemberwa Mathias Rukundo n’amaka g’Obwapulezidenti n’ekigendererwa ky’okubangula Bannamawulire ku ngeri gyebayinza okwekulakulanya ate n’okumanyisibwa ebikwata ku nsi yaabwe.
Rukundo ategezezza nti omusomo guno ogwatandise olunaku lw’eggulo,gwakugalibwako Pulezidenti Yoweri Museveni ku Lwomukaaga February 11,2023 nga mu bbanga lino Bannamawulire abasoba mu 600 bagenda kubeera bafuna abasomesa ab’enjawulo.
Alupo amaliriza yeyamye okusakira Bannamawulire okuva mu bakulu abamusinga okulaba ng’ekibiina kyaabwekiteekebwamu ejjamba lyebasobola okweyambisa okwekulakulanya.
Jesaca Alupo ng'ayogerako eri bannamawulire
Abakulu abalala abaniriza Alupo kubaddeko Omumyuka wa Cansala wa yunivasite y’e Kyambogo,Polof. Elly Katunguka,akuliddemu abasomesa mu musomo guno Col. Justus Rukundo ate n’omukwanaganya w’okusomesa omwoyo gwa ggwanga mu ofiisi ya Pulezidenti Hellen Seku.
Omukozi wa Redpeeper ng'annyonnyola bannamawulire abakyala bye bayitamu