AKULIRA oludda oluvuganya mu palamenti Joel Ssenyonyi alaze obw’ennyamivu engeri Jane France Abodo nga kati ye mulamuzi omukulu gyakutemu ensonga z’abasibe abaalagibwa okukomya okugezesebwa mu kkooti y’amagye bwabadde ku ddaala lya ssaabawaabi wa gavumenti.
Leero akakiiko ka palamenti akasunsula ababeera balondeddwa pulezidenti aka Appointments Committee kasunsudde Abodo wamu n’abalamuzi abakulira Code Tribunal okubadde Roselyn Karugonjo Segawa (ssetebe), Anthony Conrad Kaweesi Kakooza (amyuka ssentebe ),ne ba mmemba okuli Jane Okelowange, Didas Bakunzi Mufasha, ne Annette Karungi.
Agambye ensonga eno ssaabawolereza wa gavumenti Kiryowa Kiwanuka abadde ajitunnuliza Abodo kyokka nga kyanaku nga ne Abodo naye abadde agyesamba.
Sseyonyi era asabye omuwendo gw’abalamuzi okwongera okwongezebwako olwo omuwendo gw’emisango ejitudde mu zi kkooti ez’enjawulo gukendeere.