MUNNAMAWULIRE wa Bukedde, Shakirah Nalugo awangudde olugendo olutukuvu olw’e Mecca (Umrah) mu mpaka z’okusoma ekitabo ekitukuvu ekya Kulaani.
Ekitongole kya Muslim Journalists Taqaddum Sacco Ltd. kyategese empaka za bannamawulire mwe battunkidde mu kusoma Kulaani ezaabadde ku Palamenti.
Muwonge (kkuno), Sheikh Kayira, Minisita Kabanda, Nalugo Owa Bukedde Ne Ssekayiba Owa Pearl Nga Basala Kkeeki.
Empaka zino zaawanguddwa Hunais Ssekayiba owa Pearl FM n’addirirwa Nalugo eyakutte ekyokubiri. Kkampuni ya Makka and Madinah Hajj Services yawadde Ssekayita ekirabo ky’okumutwala e Mecca ku Umra ate aba kkampuni
ya Innad Travels ne minisita wa Kampala, Hajati Minsa Kabanda ne basasulira Nalugo.
Abubaker Muwonge eyayogedde ku lw’akakiiko akategesi yagambye nti ekigendererwa ky’empaka zino kwe kubakuumira ku ddiini y’Obusiraamu baleme kuwugulwa bintu bya nsi.