Ebikwasizza Genero wa UPDF

MUNNAMAGYE wa UPDF eyali akulira ekitongole ky’amagye ekikessi, Maj. Gen. James Birungi akwatiddwa!

Maj.Gen James Birungi eyakwattiddwa
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

MUNNAMAGYE wa UPDF eyali akulira ekitongole ky’amagye ekikessi, Maj. Gen. James Birungi akwatiddwa!
James Birungi, eyali akulira ekitongole ekya Defence Intelligence and Security (DIS) edda ekyali kimanyiddwa nga CMI kigambibwa nti yakwatiddwa n’aggalirwa ku Lwokutaano lwa wiiki ewedde oluvannyuma  w’okulabikako mu ofiisi
y’amyuka omuduumizi w’amagye ga UPDF, Lt. Gen. Samuel Okiding  gye yabadde
agenze okwewozaako ku nsonga ezeekuusa ku  mawulire ag’obukessi ag’obulimba
n’ebikwekweto ebyakolebwanga ekitongole kye yali akulira ebitavangamu, bibala.
Omwogezi w’amagye ga UPDF mu ggwanga, Maj. Gen. Felix
Kulayigye yakakasizza okukwattibwa kwa Gen. Birungi, n’ategeeza nti, kwekuusa ku kunoonyereza ku mivuyo egyali mu kitongole kye yali akulira okugenda mu maaso.
Mu June w’omwaka guno, akulira UPDF era nga ye muyambi wa Pulezidenti avunaanyizibwa  ku bikwekweto eby’enjawulo mu ggwanga, Gen. Muhoozi Kainerugaba  yateekawo akakiiko ak’enjawulo kanoonyereze ku mivuyo omwali okupaatiikawo amawulire g’ekikessi ag’obulimba agakwata ku bikolwa by’obutujju ebyakolebwanga mu kitongole kya CMI n’ebigendererwa ebitannaba kumanyika. Akakiiko kano kakulirwa Lt. Gen. Okiding, era nga kaliko ne bammemba abalala okuli; aduumira mu ggwanga, IGP- Abbas Byakagaba; Dayirekita w’ekitongole ekikettera
munda mu ggwanga (ISO)-Arthur Mugyenyi; Dayirekita w’ekitongole ekikettera wabweru w’eggwanga (ESO)- Amb. Joseph Ocwet; Akulira ekitongole kya Poliisi ekikessi-Maj. Gen. Christopher Ddamulira, akulira ekitongole kya Poliisi ekinoonyereza
ku buzzi bw’emisango-AIGP-Tom Magambo; ne Col. Ddamuliram Sseruyange, akulira eby’obukessi mu  kitongole SFC ekikuuma Pulezidenti. Bano omulimu ogwabaweebwa omukulu gwali gwa kunoonyereza ku bigambibwa nti abanene mu kitongole kya CMI beekobaana nga ne batondawo amawulire agakwata ku butujju basobole okuweebwa
ssente ez’ebikwekweto ebyekiyita mu lujja.
Kyokka ensonda endala zigamba nti, oluvannyuma lw’okuggyibwa mu CMI ne ku kifo ky’obuduumizi bw’ekibinja UPDF eky’omusozi (Mountain Brigade), Birungi yali yajeemera bakamaabe n’agaana okugenda e Burundi gye yali aweereddwa obuvunaanyizibwa obulala.
ABALALA ABAKWATTIDDWA
Birungi kati yeegasse ku banene abalala mu CMI abasooka okukwattibwa nsonga yeemu   ku biragiro bya Gen. Muhoozi, kuliko; Col. Peter Ahimbisibwe (Dayirekita w’ekitongole ekirwanyisa obutujju (JAT) ne Lt. Col. Ephraim Byaruhanga (Dayirekita eyali avunaanyizibwa ku bikwekweto eby’enjawulo mu CMI, era nga bano baabakwattira ku kitebe ky’amagye e Mbuya. Kigambibwa nti bano egimu ku mipango gye baakola mwe mwali owa boda n’omukazi abaafiira okumpi n’ekiggwa ky’Abajulizi e Munyonyo nga June, 3, 2025, wamu n’omukazi eyattibwa ku Ssande, nga June 22, 2025, okumpi n’akatale k’oku Kaleerwe, nga bagambibwa nti baali batujju.