ABATUUZE ku kyalo Namanoga, ekisangibwa mu ggombolola y’e Seeta-Namuganga mu disitulikiti y’e Mukono, beekozeemu omulimu ne bataayiza ekibinja ky’abavubuka be bateeberezza okuba ‘Bakifeesi’ ne babatta. Bino byabaddewo ku ssaawa mwenda mu kiro ekyakeesa August, 29, 2025.
Bano okuva mu mbeera, kyaddiridde okukizuula nti abavubuka bano baabadde babawadde ssente z’ebicupuli ng’ate babatutteko ebyamaguzi byabwe ebiwera omwabadde ebyokulya n’okunywa. Omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emiriraano, Patrick Onyango yategeezezza nti waliwo abavubuka babiri abaagajambuddwa ne babuuka n’ebisago ebyamaanyi era nga baaweereddwa ekitanda mu ddwaaliro erimu.
Bano kwabaddeko; Ashiraf Batiga, omutuuze w’e Makindye, wamu ne Shafik Kintu, omutuuze w’e Nalumunye-Jomaayi. Onyango yagasseeko nti gyo emirambo gy’abagenzi etaano gyatwaliddwa mu ggwanika ly’eddwaliro ly’e Kayunga nga
n’okunoonyereza ku ngeri gye battiddwamu bwe kugenda mu maaso.
Baategeerekese nga; Morris Nyonyintono, Denis Kimbugwe, Emmanuel Mukalazi, Moses Kakooza abangi gwe bamanyi nga Mulinnya, wamu ne Fred Mulenzi
amanyiddwa ennyo nga Kazungu.
Okunoonyereza kwa Poliisi kulaga nti abavubuka bano baabadde bavudde mu Divisoni
y’e Makindye mu Kampala nga bagenze okwetaba mu kaliyoki eyabadde ategekeddwa ku bbaala eyitibwa Lion’s Bar. Emmotoka ekika kya ttakisi namba UBD 326X egambibwa okuba nga ye yaleese abavubuka bano, nayo abatuuze baagiteekedde
omuliro n’ebengeya yonna.
Poliisi okuva e Kasawo nga eyambibwaako ginnaayo ey’e Naggalama we baatuukiddeku bbaala eno, ng’abamu ku batuuze abateeberezebwa okutwalira amateeka
mu ngalo baamazeemu dda omusubi, kyokka ne bavumirira nnyo ekikolwa kino.
Esatu ku mirambo Poliisi yagisanze batuuze bagirizze emiguwa okumpi n’omuzindaalo
ogwabadde gukozesebwa mu kaliyoki, ate ng’emirala gigang’alamye mu nnimiro y’emmwanyi eriraanyewo. Oluvannyuma baaleese kasiringi n’esika ebipampagalo bya
ttakisi ne bagitwala ku Poliisi e Kasawo nga n’okunoonyereza ku fayiro y’ettemu lino namba CRB: 124/2025, bwe kugenda mu maaso.
Bwe bwazibidde eggulo, ng’aboluganda lw’abagenzi abasinga baweereddwa emirambo
gy’abantu baabwe okugenda okugiziika. Wabula abamu ku batuuze baawuliddwa nga beewera nti si bakukkiriza ‘Bakifeesi’ kubalumba mu byalo nga babanyagulula mu
mbeera y’ebyenfuna eyongedde okukaluba