Bannalotale ku luguudo lw'e Gayaza-Kasangati nabo beegasse ku bannaabwe mu ggwanga okudduka emisinde gya Rotary Cancer Run nga bano baasimbudde ku ddwaaliro lya Peoples Medical Hospital Gayaza ne beetooloola ebintu ebyenjawulo mu Gayaza..
Rotary Club ezeetabye mu misinde kwabaddeko eya Kiwenda, Kasangati, Kiteezi, Mpererwe, Manyangwa Nakwero ne Gayaza. Baasoose kukola dduyiro nga tebannadduka.
Dr Frank Ndugga, omu ku bannalotale b'e Gayaza wano wa yaweeredde Bannayuganda amagezi okufuba okugenda nga malwaliro okwekebeza kansa ng'obudde bukyali kubanga bw'omuzuula ng'akyali ku siteegi esooka kyangu okuwona, n'ategeeza nti ssente ezigenda okuva misinde gino gigenda zaakuyambako mu kugula ekyuma kya kkansa mu ddwaaliro e Nsambya.
Stephen Sango, pulezidenti wa Gayaza Rotyary Club wamu ne bannalotale abalala baasabye abantu okukwasizaako Rotary okugula ekyuma kino nga bayita mu kwetaba mu misinde.