Eyakulirako ettendekero lya MUBS asindikiddwa e Luzira ku by'okukozesa obubi offis

Waswa Balunywa 68, omutuuze ku kyalo Bugabo Katabi mu disitulikiti y’e Wakiso azze yEebulankanya okulabikako eri kkooti okutuusa eggulo, bwe yalabiseeko eri kkooti mu maaso g’omulamuzi Rachael Nakyazze mu kkooti ewozesa abalyake n’abakenuzi e Wandegeya n'amuggulako emisango gy'okukozesa obubi ofiisi bwe yawa abantu emirimu nga tebalina buyigirize bumala.

Eyakulirako ettendekero lya MUBS asindikiddwa e Luzira ku by'okukozesa obubi offis
By Harriet Nakalema
Journalists @New Vision
#Amawulire #Wasswa Balunywa #Mubs

Eyaliko omukulu w’ettendekero lya MUBS (Makerere University Business School)  kyaddaaki alabiseeko mu kkooti n'emusindika e Luzira oluvannyuma lw'okuggulwako emisango gy’okukozesa obubi ofiisi.

Waswa Balunywa 68, omutuuze ku kyalo Bugabo Katabi mu disitulikiti y’e Wakiso azze yEebulankanya okulabikako eri kkooti okutuusa eggulo, bwe yalabiseeko eri kkooti mu maaso g’omulamuzi Rachael Nakyazze mu kkooti ewozesa abalyake n’abakenuzi e Wandegeya n'amuggulako emisango gy'okukozesa obubi ofiisi bwe yawa abantu emirimu nga tebalina buyigirize bumala.

Emisango gino gyonna yagyegaanye. Balunywa yagguddwako emisango esatu nga kigambibwa nti wakati w’omwezi gwa February ne March wa 2023 nga akola nga akulira ettendekero lya Makerere University Business School olw’obuyinza bwe yalina mu ofiisi eyo, yawa abantu basatu emirimu nga akimanyi bulungi nti tebalina buyigirize bumala.

Bano kwaliko James Arike, Nathan Nuwagira ne Nimrod Kakayi wabula bino byonna yabyegaanyi.

Oludda oluwaabi nga lukulembeddwamu omuwaabi wa gavumenti Immaculate Agotoku ne Caroline Nabasa bategeezezza kkooti nti okunoonyereza ku musango guno kuwedde ne basaba obudde okwetegekera obujulizi.

Balunywa ng’ayita mu bannamateeka be nga bakulembeddwa Asuman Matovu yasabye okweyimirirwa era wano we yaleetedde abamweyimiridde 4.

Mu bano kwabaddeko Muhammed Ngoma akulita ettendekero lya Kampala International University, Sudi Nangoli akulira okuddukanya emirimu mu Uganda Printing and Publishing company.

Mu balala kuliko  Ali Balunywa, mutabani we era nga y’akulira obwakitunzi mu kkampuni ya Airtel ne Zaujja Ndifuna mwannyina wa Balunywa akulira amasamero ga Mbogo.

Wabula oludda oluwaabi lwawakanyiza okusaba kwe ne kutegeeza nga Balunywa bwalina omusango omulala ogulina okumuggulwako ku mpaaba ya kkooti endala.

Omusango omulala ogumuguddwako kigambibwa mu mwaka gwa 2020 ne 2023 nga y’akulira ettendekero eryo, nga talina buyinza bumala, yawa abantu 103 emirimu ate nga kino kyalina kukolebwa kakiiko akagaba emirimu.

Wano, omulamuzi Nakyazze yategeezezza nga bw’atasobola kwanukula kusaba kwabwe olw’ensonga y’omusango omugya n’amusindika ku alimanda e Luzira okutuusa nga September 5, 2025 n’abalagira okuleeta abayima abaggya abanaasobola okumweyimirira mu musango omulala.