ABAYIZI b'essomero St. Paul SS Nsangi Katereke mu disitulikiti ye Wakiso ne gyebuli eno bakyajaganya olw'okuyita ebigezo bya S4 ebyafulumiziddwa ku lwokuna February 9,2023..
Hasifah Nakalule nga yafunye obubonero 24 ategeezezza ng'okwewala otulo otususe nga ky'ekimu ku bintu ebyamuyambye mu lugendo lwe luno saako n'okutambulira mu kulambikibwa kw'abasomesa be.
Abayizi abalala baategeezezza nga ng'okukola okukubaganya ebirowoozo n'okwebangula ku masomo ge babadde bakola nga bwekibayambye ennyo okuyita obulungi.
Simon Patrick Kimbowa, Omutandisi w'essomero lino ategeezezza ng'abayizi baabwe bwebaakoze obulungi mu masomo ga sayansi saako n'ennimi okuli Oluganda n'Olungereza era neyebaza abazadde olw'okubeesiga n'abaana baabwe okubabangula.