Okusaala kwa Eid Elfitr , ku muzigiti gwa Old Kampala kukulembeddwamu Mufti Sheik Shaban Ramathan Mubajje.
Okusaala Eid ku Old Kampala 
Mubajje asabye gavumenti eyanguyirizeeko ku nteekateeka y'okuriyirira abasuubu abazze bakosebwa mu mataba. Era ono asabye wasooke wabeewo okuteekerateekera abatembeeyi abajjibwa ku nguudo mu bibuga ebye njawulo nga tebanaba kusengulwa.

Okusaala Eid ku old Kampala
Dr.Ramathan Goobi , omuteesiteesi omukulu mu minisitule y'ebyensimbi, akiikiridde gavumenti mu kusaaka kuno.
Agambye nti gavumenti erina enteekateeka nyingi ez'okugoba obwavu mu bantu wadde nga abasiraamu bangi balemeddwa okuzeenyigiramu ate nga gavumenti essaamu ssente nyingi eziri eyo 2.4trions. Akubirizza abasiraamu bazeenyigiremu okusobola okutuukiriza ebigendererwa bya gavumenti. Okusaala kwetabiddwaamu abantu bangi