POLIISI ekoze ekikwekweto mw’ekwatidde abateeberezebwa okwenyigira mu kubbira ku luguudo lwa Northern Bypass n’ebaggalira mu kaweefube w’okulwanyisa obumenyi bw’amateeka.
Kino kiddiridde poliisi okufuna okwemulugunya okuva mu bantu ng’obumenyi bw’amateeka bwe buzzeemu ku luguudo luno naddala obudde obw’akawungezi ng’abantu babasikambulako ebintu byabwe obubinja bw’abavubuka.

Nandawula ne Kawala nga boogera mu lukung'aana lwa bannamawulire
Amyuka omwogezi wa poliisi mu ggwanga SSP Dianah Nandawula yagambye nti ekikwekweeto ku luguudo lwa Northern Bypass kyakoleddwa poliisi y’e Nateete nga kyabadde wakati wa Busega ne Masanafu nga abaserikale baakutte abantu 78 ne basangibwa n’ebintu eby’enjawulo omuli emisokoto gy’enjaga , obwambe n’ejjambiya.
Yagambye nti mu wiiki emu poliisi ekutte abateeberezebwa okwenyigira mu bumenyi bw’amateeka mu bitundu eby’enjawulo naddala Kampala mwe bakwtidde abasoba 500 ne batwalibwa mu kkooti ne bavunaanibwa.