POLIISI y’e Matugga ekutte n’eggalira abantu 4 abagambibwa okuwamba bbulooka w’ettaka mu bitundu by'e Buwambo mu diviizoni y'e Gombe ne bakanda abaffamire ye obukadde 50. Babadde baakabawaako obukadde 35, poliisi n’ebazingiza n’ebakwata.

Kamoga eyabadde awambiddwa
Abakwatiddwa kuliko Dan Sejjobe ne Sirus Nsubuga n’abalala babiri nga bano kigambibwa nti baawambye Mohammad Kamoga omutuuze w'e Buwambo ne bakanda ab’enganda ze obukadde 50 okumuta.
Kamoga yategeezezza nti yawambibwa ku Lwakubiri nga March 17, 2026 mu bitundu by’e Kiti ku luguudo oluva e Matugga okudda e Kasangati bwe yali ava okubaako abantu b’alambuza ettaka e Kasangati.
“Ku ssaawa nga 4:00 ez’ekiro mba nzira awaka nga naakayisa ekikubo ekigenda ewa Besigye nagenda okuwulira nga waliwo atomedde mmotoka yange, bwe nnayimirira abantu 6 ne bafuluma ne bankwata nga omu yali ayambadde engoye ezeefaananyirizaako ez’abamagye,”Kamoga bwe yannyonnyodde.

Omulala eyakwatiddwa ku baawambye
Nti olwamukwata ne bamusuula mu bbuutu y’emmotoka yaabwe ate eyiye gye yali avuga ekika kya Harrier nnamba UA 422CP , omu ku bo n’agivuga.
Baasooka kumutwala mu kifo ky’ataategeera kuba baali bamusibye ekigoye ku maaso. Baayimirira ne bamusaba obukadde 50 nti bw’atazibawa nga bamutta.
“Mu mmotoka nalinamu obukadde 35 ne nzibawa , wabula ne bang’amba nnyongereko 15. Bang’amba mbeeko abantu be nkubira essimu kwe kukubira mwannyinaze Eve Namatovu ne mugamba nti bampambye era baagala obukadde 15.
Banvuga ne bantwala mu bitundu by’e Kajjansi ne bakubira mwannyinaze abaleetere ssente, wabula engeri obudde gye bwali bugenze nga alinawo emitwalo 20 ze yalinawo.
Banvuga ne baagala okunkasuka mu kitoogo e Namungoona, wabula ne nvumbagira omu gwe nategeera nga ye Nsubuga era mmotoka ya poliisi eyali eyitawo n’emukwata. Twagenda ku poliisi e Matugga ne tuggulawo omusango.”
Mwannyina wa Kamoga ayitibwa Namatovu yagambye nti mwannyina olwamutegeeza nti awambiddwa n’atuukirira poliisi y’e Matugga eyalondoola ennamba ye nga ebalaga nti eri mu bitundu bye Kajjansi. Poliisi y’e Matugga yakwatagana n’ey’e Kajjansi n’ey’e Ntebe okutuusa bwe baabakwata.
Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emirirano, Luke Owoyesigyire yagambye nti poliisi bwe yafuna amawulire ekiro ekyo batandikirawo okuyigga okutuusa bwe baakwata Nsubuga nga ye yalonkomye banne abaali mu ddiiru eno nga omutwe omukulu ye Ssejjobe Dan. Abakwate bali ku ffamiro nnamba SD:REF: 74/17/03/2026