Amawulire

Okukola oluguudo lwa Busega - Mpigi kuzzeemu

OKUKOLA oluguudo lwa Busega - Mpigi Flyover kuzzeemu Gavumenti n’erangirira nti Bannayuganda baakutandika okulukozesa mu 2028.

Ebimotok ebisomba ettaka mu kukola oluguudo luno. Ku kkono ye minisita Katumba Wamala.
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalists @NewVision

OKUKOLA oluguudo lwa Busega - Mpigi Flyover kuzzeemu Gavumenti n’erangirira nti Bannayuganda baakutandika okulukozesa mu 2028.
Minisita w’Ebyentambula, Katumba Wamala yategeezezza nga Gavumenti bwe yafunye ssente z’okuzimba oluguudo luno era bagenda kutandikirawo okutambuza emirimu mu bwangu.
Gavumenti yakola enteekateeka z’okuzimba oluguudo luno mu 2020 n’ekigendererwa ky’okukendeeza akalippagano k’ebidduka ku luguudo lw’e Masaka ne luweebwa kkampuni y’Abachina eya CCECCCR19.
Wabula mu kaseera katono, oluguudo luno lwayimirizibwa olw’ebbula lya ssente era nga Gavumenti yawalirizibwa okuwummuza abakozi abaali balukola. Kyokka abamu ku bantu abaasendebwa ebibanja byabwe olw’enteekateeka y’okukola oluguudo luno bakiikidde Gavumenti ensingo olw’okulwawo okubaliyirira.
Jimmy Lubega, omu ku batuuze agamba nti y’omu ku baakosebwa enteekateeka eno wabula ne gye buli eno, tafunanga munwe gwa nnusu ky’agamba nti si kya bwenkanya era n’asaba be kikwatako okumusasula. Moses Kasozi yategeezezza nti abamu ku batuuze baamutuukirira okubayamba nti kuba ebyapa byabwe byatwalibwa mu nteekateekay’okukola oluguudo luno.
Eky’okuba nti balukola kasoobo yagambye nti kyongedde obumenyi bw’amateeka, kuba ababbi beeyambisa ebigoma okuteega ebidduka obudde bw’ekiro.
Kkansala w’eggombolola y’e Muduuma ku disitulikiti, Francis Sendyowa yategeezezza basuubira enkulaakulana ey’amaanyi ng’oluguudo luwedde.
OMWOGEZI W’EKITONGOLE ATANGAAZIZZA
Omwogezi w’ekitongole kya minisitule y’ebyentambula, Allan Sempebwa yategeezezza nti teri muntu yasendebwa kibanja kye ategenda kuliyirirwa wabula ekizibu kye babadde nakyo kwe kuba nti Gavumenti ebadde tennafuna ssente n’agumya abatuuze abaakosebwa.
Sempebwa agamba balina essuubi nti oluguudo luno bwe lunaatuukira mu mwaka gwa 2028, bajja kuba baluggyeeko engalo.
Oluguudo luno okuva bwe lwatandika okukolebwa mu 2020, ebintu bingi ebikyuse naddala ebbeeyi y’ettaka nga mu kiseera kino poloti eziruliraanye, zigula buwanana ate nga n’abavubuka abawerako baafuna emirimu mu kukola oluguudo luno era bangi embeera yabawe yatereeramu