Amawulire

TRUMP AGONZE: Yeekyusizza ku by’okukuba amafuta ga Iran

EBADDE ebula ssaawa busaawa nsalessale Trump gwe yawadde Iran okuggula akagolomolo ka Strait of Hormuz awayita amafuta aggweeko, n’ayisa ekiragiro ekisazaamu eby’okukuba amasannyalaze, amafuta ne ggaasi w’eggwanga eryo okumala ennaku ttaano.

Abajaasi ba America nga batikka mizayiro ku mmotoka okuzitwala ku nnyonyi.
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalists @NewVision

EBADDE ebula ssaawa busaawa nsalessale Trump gwe yawadde Iran okuggula akagolomolo ka Strait of Hormuz awayita amafuta aggweeko, n’ayisa ekiragiro ekisazaamu eby’okukuba amasannyalaze, amafuta ne ggaasi w’eggwanga eryo okumala ennaku ttaano.
Mu kiragiro ekyafulumiziddwa kumpi buli mawulire ag’amaanyi mu nsi, Pulezidenti wa America, Donald Trump yagasseeko nti, ayogedde ne Iran mu kuteesa kwabwe ne babaako bye baatukako.
IRAN YEEGAANYI OKUTEESA NE TRUMP
Wabula bwiino w'ekiragiro kya Trump yabadde tannakala, Iran n'efulumya ekiwandiiko ng'esaabulula ebya Trump bw’etegeezezza nti terina nteeseganya zonna kazibe butereevu oba enteeseganya ez'okuyita mu bantu, Iran z'erina ne America oba Trump.
Ekiwandiiko kya Iran ekyafulumiziddwa omukutu ogwa FARS, kyategeezezza nti Trump akkirize nti Iran emukeesezza olutalo naye aleke kulimba nsi nti waliwo enteeseganya wakati w'amawanga gombi. Iran yagambye nti, yaakusigala nga yeerwanako buli lwe banaalumbibwa omulabe yenna.
Trump mu bubaka bwe yayisizza ku mukutu gwe ogwa Social Truth, teyayogedde kafubo gye kaabadde na biki bye baatuuseeko wabula n’alaga bw’asazizzaamu olulumba ssinziggu.
Mu kiragiro kya Trump ekyafulumye ku Lwomukaaga, Iran yayanukudde ng’eraga nti ssinga bagikubira amasannyalaze, egenda kwesasuliza ku masannyalaze, amafuta ne ggaasi by’amawanga agagiriraanye okuli ne Yisirayiri.
Akagolomolo akagulumbya amawanga gombi, ke kayitamu amafuta g’amawanga mangi agakola ebitundu 20 ku 100.
Ebyo okubeerawo, nga Trump era yaakasaba amawanga ag’amaanyi naddala ag’omukago gwa NATO, geegatte ku America galeete emmeeri ennwaanyi zisaggule akagolomolo kaggulwe.
Iran era eyabadde etiisizza nti akagolomolo egenda kukaggalirawo ddala ssinga bagikoonako, ensonda zigamba nti amawanga g’Abazungu gaayanguye ne gasaba Trump alindemu okukuba wasooke wabeewo okuteesa.
Amawulire ga BBC gaalaze obubaka bwa Trump ng’agamba bwe yateesezzaamu n’aba Iran ku by’okuggula akagolomolo ekyamuviiriddeko okulagira okuyimiriza okukuba amafuta.
Kyokka amawulire ge gamu, gaalaze gannaago aga CBS News mu America nga googeza minisitule ya Iran ey’ensonga z’ebweru nti tennateesa na Trump ku nsonga yonna ku ssaawa 48 ze yabadde abawadde okubakuba.
AMERICA EBADDE ETISSE BBOMU KU BWAGUUGA W’ENNYONYI
Nga Trump tannabisazaamu, ennyonyi z’eggwanga lye ekika kya B-52 Bombers eziri mu Bungereza, zaabadde zaamaze dda okutikka bbomu zaazo.
Ennyonyi nnya nga buli emu etisse bbomu 20 ekika kya Bunker-buster munitions, zaabadde zirinze kiragiro zirumbe okukuba amafuta ne bafuna ssimu ebalagira basooke balindeko.
Ennyonyi ezo nga ziri ne zinnaazo eza B-1 Lancer, ze zimu ku zizze zikuba Iran nga zisinziira ku kisaawe kya RAF Fairford mu Bungereza.
Mu nteeseganya ezaabaddeez’ekyama Trump ze yayogeddeko, kisuubirwa nti zigenda kumala ennaku ttaano balabe ekiddako, Iran bw’egaana okuggula akagolomolo, luddemu lukoye.
BUNGEREZA ESINDISE LUBBIRA MU DDWAANIRO
Katikkiro wa Bungereza, Keir Starmer yakkaanyizza ne Trump eyasabye amawanga ga Bulaaya galeete emmeeri zaago balabe bwe baggula akagolomolo ku kifuba oba mu ddembe.
Starmer eyasoose okutuuza olukiiko olukwata ku by’entalo oluyitibwa Cobra Meeting eggulo, era yayogedde ne Trump ku by’akagolomolo.
Mu ddakiika 20 ze baamaze ku ssimu, kirowoozebwa nti we waavudde Trump okusazaamu eby’okukuba amafuta ga Iran n’obulabe obwandikivuddemu, ne basalawo kukozesa maanyi ku kuggula akagolomolo mu kifo ky’okukuba amafuta.
Mu kiseera kye kimu, amawanga amalala gali mu kuleeta magye gaago gayambe mu kuggulawo akagolomolo ku mpaka oba okuwerekera emmeeri z’amafuta okukayitamu.
Ebyo byonna nga bigenda mu maaso, emmeeri ya Bungereza eyitibwa HMS Anson yo etuuse mu liyanja Arabian Sea. Eno mmeeri y’amaanyi mu byentalo nga nayo ekozesa maanyi ga nukiriya.
Etisse bbomu ne mizayiro naddala ekika kya Tomahawk ezimu ku zisinga amaanyi mu nsi yonna.
IRAN NE YISIRAYIRI BONGEDDE OKWEKUBA
We bwazibidde eggulo nga Yisirayiri ne Iran zikyekuba. Amawulire ga France24 gagamba nti, Yisirayiri mu lukuba olwo, yakubye Iran mu kwesasuza olw’olulumba lw’Olwomukaaga era abantu bangi baalumiziddwa.
Katikkiro wa Yisirayiri, Benjamin Netanyahu yasoose kwewera nti, eggwanga lye ne America gagenda kukuba Iran kugifiirako bufiizi.
Eggulo amawulire gaalaze amawanga ago bwe gaakubye emu ku fakitole za Iran eweesa mizayiro ekika kya Ballistic. Iran nayo ekyagenda mu maaso n’okukasuka ebikompola mu Yisirayiri.