BANNAYUGANDA abawangaalira e South Africa baguddemu ekyekango, bannaabwe bana bwe bafudde ku lunaku lumu.
Abaafudde kuliko Isa Ndimubanji, Collins Kaggwa, Sperito Mugula ne Andrew Kyambadde Zziwa.
Ndimubanji yattiddwa na masasi nga yaakava ku muzikiti okusaala esswala ya Iddi. Amasasi baagamukubidde mu maka ge agasangibwa mu kitundu ky’e Mpumaranga ku kyalo Kwandebere era y’abadde ssentebe wa Bannayuganda ababeera mu kitundu kino.
Omu ku bakulembeze ba Bannayuganda e South Africa, Ali Ssekamatte yagambye nti, abatemu baazingizza Ndimubanji nga yaakatuuka awaka okuva ku muzikiti, ne bamufukirira amasasi ku mutwe. Bwe baakakasizza nti afudde, ne beeyongerayo era tewali kintu kye baatutte.
Ssekamatte yagambye nti, omugenzi abadde alina amasomero agawerako, amaduuka ggaggadde aga supamaketi, loogi ezisulwamu n’ebyobugagga ebirala.
Zziwa abadde mutuuze w’e Bat Worthy nga yafiiridde mu kabenje ne ddereeva we. Sam Mbabaali mukulu w’omugenzi, yagambye nti, ffamire ya Zziwa eri Kawempe ku lukadde era bali mu nteekateeka ezikomyawo omulambo gwe.
Ye Kaggwa abadde makanika ng’akolera ku BP Service Garage. Ono yasirittuse n’agwa nga yaakatuuka ku mulimu ne bamuddusa mu ddwaaliro gye yafiiridde. Abadde abeera mu kibuga Cape Town.
Ate Sperito Mugula abadde abeera Lastenberg, nga ye yafudde bulwadde bw’akafuba bw’amaze nabwo ebbanga. Bannayuganda bali mu kwesondamu ssente okulaba ng’emirambo gikomezebwawo