Amawulire

Afande eyakwatibwa ku by'okutta Kagezi azzeemu n'aggulwako emisango emirala

KKOOTI eggudde emisango gy’obutemu emipya ku ofiisi wa Poliisi Nixon Agasirwe Karuhanga eyakwatibwa ku by’okutta omuwaabi w’emisango gya Gavumenti Joan Kagezi eyatemulwa nga March 30, 2015.

Afande eyakwatibwa ku by'okutta Kagezi azzeemu n'aggulwako emisango emirala
By: Margaret Zalwango, Journalists @New Vision

KKOOTI eggudde emisango gy’obutemu emipya ku ofiisi wa Poliisi Nixon Agasirwe Karuhanga eyakwatibwa ku by’okutta omuwaabi w’emisango gya Gavumenti Joan Kagezi eyatemulwa nga March 30, 2015.

 

Emisango emipya eggyagguddwa ku Nixon y'emu ku nsonga ezaaweereddwa mu kkooti ng’omulamuzi agoba okusaba kwe okw’okweyimirirwa kubanga poliisi yazzeemu buto okumunoonyerezaako ku misango egyo egya nnaggomola egigambibwa nti yagizza bwe yali akyalina amaanyi mu Poliisi.

 

Agasirwe ne Abdu Noor Ssemujju amanyiddwa nga Minaana, bali mu kuwerennemba n’emisango gy’okutta eyali omuwaabi wa gavumenti Joan Kagezi, eyattibwa nga March 30,2015, e Kiwatule mu munisipaali y’e Nakawa mu Kampala, bwe yali avudde mu mmotoka ye okugula ebibala.

 

Agasirwe yali yasaba kkooti emuyimbule ku kakalu kaayo awoze ng’ava bweru, ekintu kkooti kye yagaanye, okuyita mu nsala y’omulamuzi wa kkooti enkulu mu Kampala, Isaac Muwata.

 

Mu nsala ye, Muwata yagambye nti Poliisi ne ofiisi y’omuwaabi wa gavumenti bali mu kunoonyereza ku misango emipya egigambibwa nti Agasirwe yagizza, ate nga gya naggomola, nga tayinza kumala gamuyimbula bwatyo.

 

Mu misango gino mulimu okuwamba omuntu n’ekigendererwa eky’okumutta, obwakkondo, n’obutemu nga kigambibwa yaguzza mu 2016, ate ogw’obutemu gwa 2010, ogw’obutemu omulala gwa 2004 nga kigambibwa nti yaguddiza ku bitundu by’e Masaka, ssaako ogw’okufuna obugagga mu ngeri etategeerekeka nga gyonna gya nnaggomola.

 

Muwata yagambye nti okuyimbula Agasirwe mu kiseera kino, kyanditaataaganya okunonyereza okugenda maaso, bwatyo n’amulagira adde mu kkomera e Luzira.

Tags:
Mulamuzi
Misango