GAVUMENTI eggye enta mu kuvunaana ofiisa wa poliisi abadde avunaanibwa okukuba looya w’omu Kampala amasasi agaamutta.
SP Vincent Irama Urri nga yali Kampala Metropolitan Police North Regional Police Commander abadde avunaanibwa okutta munnamateeka, Ronnie Mukisa.

Sp Urri eyejjeerezeddwa
Omusango bwe gubadde gukomyewo okuwulirwa mu kkooti ya magye e Makindye, omuwaabi wa gavumenti, Capt Gift Mubehamwe ategeezezza nti alinanategeeza nti Alina ekiragiro obutagenda maaso nokuvunaana Irama.
Mubehambwe ategezezza kkooti ekulirwa Col Patra Asha nti ssabawaabi wa kkooti yamaggye Enta mu kuvunaana Irama era n’alagira aggyibwe ku bawawaabirwa abali ku musango ogwo.
Omulamuzi Col. Patra ategeezezza Irama nti musajja wa ddembe kati, okuggyako ng’akwatiddwa mu misango emirala kubanga ssaabawaabi w’amagye eby’okumuvunaana abivuddeko.
Irama 45, abadde avunaaniddwa n’abantu abalala okuli n'abajaasi ba UPDF babiri okuli Cpl Marx Godfrey Anyasi 51, Sgt Ayubu Rashid 33, ssaako Robert Kareodu 50 ne mukyala we Brendah Cathy Nalwoga 29 ne munnansi wa Kenya Mzee Jesebelat Hoyeza 50.
Oludda oluwaabi lugamba nti munnamateeka Mukisa yattibwa nga May 30, 2023 e Kitiko Mutungo mu munispaali ya Makindye Ssaabagabo bwe yali ayingira mu kisaakaate mwe yali asula.
Mukisa yakubwa amasasi abantu abaali batambulira ku bodaboda bwe yali ayingira mu maka ge e Kitiko era n’afiirawo.
Abawawaabirwa abalala baakudda mu kkooti nga April 8, 2026 okuwulira omusango gwabwe.