Amawulire

Abekitongole ky'amakomera mu ggwanga boogedde emitendera egiyitibwamu pulezidenti okusonyiwa abamu ku basibe.

By: Bukedde Omusunsuzi, Journalists @NewVision

Abekitongole ky'amakomera mu ggwanga boogedde emitendera egiyitibwamu pulezidenti okusonyiwa abamu ku basibe.

Kidiridde omukulembeze w'eggwanga okusonyiwa Omuusubuzi womu Kampala Haji Sebuufu amaze emyaka 11 mu kkomera e Luzira ku musango gw'okuwamba n'okutta. 

Omwogezi w'ekitongole kino Frank Baine, agambye nti looya w'omusibe asobola okuwandiikira president butereevu ng'amutegeeza ku musibe ono, olwo pulezidenti ebbaluwa nagiwereza akakiiko akakola ku kisonyiwo ne kasalawo. 

Agasseeko nti akulira amakomera buli mwaka awandiika lipoota n'agiweereza eraga abikwata ku basibe bano. 

Abamu abeera asaba basonyiyibwe okusinziira ku nneyisa yaabwe nga muno mulimu abakuze mu myaka nga bakoze ekibonerezo kyabwe okusukka ku bitundu 75 ku kikumi naddala nga babusango butonotono. 

Ayongeddeko nti abakyala abali embuto, abayonsa, abalwadde nga bakoze ekibonerezo kyabwe ebitundu 50 ku buli 100 nga bamisango minene, nabo basobola okusonyiyibwa.

Agasseeko nti ekibonerezo ekyakalabba kikyaliwo mu ssemateeka era nga n'ebyuma by'akalabba ebikola omulimu gw'okuwanika bagenda mu maaso n'okubirongoosa buli kiseera era ng'omuntu aweebwa essaawa 72 ng'omukulembeze amaze okussaako omukono n'alabula abantu obuteeyibaala