Amawulire

Abavuzi ba bodaboda babiri abagambibwa okusobya ku baana b'essomero abatannetuuka, bakwatiddwa poliisi e Naggalama

Abavuzi ba bodaboda babiri abagambibwa okusobya ku baana b'essomero abatannetuuka, bakwatiddwa poliisi e Naggalama. 

Abavuzi ba bodaboda babiri abagambibwa okusobya ku baana b'essomero abatannetuuka, bakwatiddwa poliisi e Naggalama
By: Godfrey Kigobero, Journalists @New Vision

Abavuzi ba bodaboda babiri abagambibwa okusobya ku baana b'essomero abatannetuuka, bakwatiddwa poliisi e Naggalama. 

Ali Sentongo 27 ne Shaffik Nsubuga 25 nga bavuzi ba bodaboda era nga batuuze b'e Kasawo mu disitulikiti y'e Mukono, be bakwatiddwa ku by'okusobya ku bawala ab'emyaka 13 n'owe 15.

Kitegeezeddwa nti Sentonga yaweebwa omulimu gw'okutwala n'okujja abaana bano  ku ssomero e Ndese buli lunaku. 

Omwogezi wa poliisi mu Kampala Recheal Kawala, agambye nti nga Feb 24 , Sentongo yabaggye ku ssomero n'abatwala ewuwe e Kasawo n'asobya ku mwana ow'emyaka 13 ate ow'emyaka 15 n'amuwa munne Nsubuga naye n'amusobyako. 

Alabudde abazadde okwegendereza abantu ababatambuliza abaana baabwe nti kuba abamu babeera bakyamu. Agasseeko nti okubuuliriza kukolebwa.