Amawulire

Abatalina mwasirizi babateereddewo ettendekero ly'ebyemikono

ABAWALA bangi abawangaalira ku mwalo gw’e Kasekulo bafuna embuto nga tebanneetuuka n’okukosebwa obutabanguko mu maka. Kino kibaviirako okuwanduka mu masomero kyokka nga n’abasajja ababeera babawadde embuto babeesamba. 

Abatalina mwasirizi babateereddewo ettendekero ly'ebyemikono
By: Ritah Mukasa, Journalists @New Vision

ABAWALA bangi abawangaalira ku mwalo gw’e Kasekulo bafuna embuto nga tebanneetuuka n’okukosebwa obutabanguko mu maka. Kino kibaviirako okuwanduka mu masomero kyokka nga n’abasajja ababeera babawadde embuto babeesamba. 
Abawala bano abasinga bakkakkana basuddewo abaana baabwe ne baddukira ku bizinga ebirala okuyiiya obulamu. Abalala bwe banoonya emirimu ne gibula nga batandika okwetunda.

Omuwala ng'ayiga okutunga

Omuwala ng'ayiga okutunga


 Mu ngeri y’okunogera ekizibu ekyo eddagala, omukago gwa Heroes for Gender Transformative Action (H4GTA) gwagguddewo ettendekero ly’ebyemikono ku mwalo guno okutaasa abawala abali mu bikumi n’ebikumi. 
H4GTA gulimu ebitongole okuli; MIFUMI ekirwanirira eddembe ly’abakyala n’okubakulaakulanya, AMREF Health ne Cordaid nga guvujjirirwa embasse eya Netherlands ne Iceland.

Abamu ku bawala abaasoma ebyemikono

Abamu ku bawala abaasoma ebyemikono


Immaculate Akello, okuva mu MIFUMI yeebazizza abavujjirizi olw’okuteeka ssente mu omukago gwa Heroes n’agamba nti abawala bangi bayambiddwa. Kati basobola okwebeezaawo n’abaana baabwe. Okugeza waliwo abawala ab’emyaka 15 ne 18 abalabirira baganda baabwe nga ssente baziggya mu kusiba nviiri. 

Aba embasse ya Iceland bagguddewo ettendekero

Aba embasse ya Iceland bagguddewo ettendekero


 Willy Nkumbi, akulira eby’embeera z’abantu ku disitulikiti agamba nti ettendekero lino ligenda kubangula abawala bano mu kusiba enviiri, okutunga, okufumba n’okukola eby’okwewunda. 
Bwe yabadde alitongoza, Sveinn H. Gudmarsson okuva ku embasse ya Iceland yeebazizza abawala abaasooka okutendekebwa abasoba mu 200 olw’okussaayo omwoyo ne bayiga era ne basobola okukyusa obulamu bwabwe. “Emirimu gyemwolesezza gizzaamu amaanyi era ginsanyusizza nnyo,” bwe yagambye.

Abayizi n'abasomesa baabwe nga boolesa bye baakoze

Abayizi n'abasomesa baabwe nga boolesa bye baakoze


Wabula Gudmarsson yasabye disitulikiti okutwala omulimu ogwo mu maaso omukago gwa Heroes bwe gunaabeera guvudde e Kalangala omwaka guno.    
Akello yayongeddeko nti jjuuzi baasindika abawala 77 mu matendekero agenjawulo e Kalangala n’e Masaka. Abaasooka okusoma bali 139 nga baakuguka mu by’enviiri ate 70 baakuguka mu byakutunga era bakola.   Yasabye disitulikiti okuwagira bizinensi zaabwe.