OMUKAZI ow'ettima akutte akaveera n'akakumako omuliro n'akatonyezza ku mwana wa mwanyina gweyamulekera okukuuma ng'amulanga kubba ssente emitwalo 10.
Bino byabaddewo ku lunaku lwa Eid omukazi Esther Nankunda abeera e Mutundwe mu Kanaala zooni bwe yayokezza omwana wa mwanyina engalo ng'akozesa akaveera nti yabadde abbye ssente.
Omwogezi wa poliisi mu Kampala n'emirirwano Rachael Kawala agambye Nankunda yayokezza omwana ow'emyaka 10 nga asoma P4 nga mwanyina yeyamumuwa okubeera naye..
Yagambye nti ku lunaku lwa Eid kusaawa 11:00 ez'olwegulo Nankunda yanoonya ssente eze nga taziraba kwekukwta omwana namwokya engalo.
Yategezezza nti abaserikale ku poliisi ye Nateete batemezeddwako nebakwata Nankunda naggulwako omusango gw'okutuluginya omwana nga okunoonyereza bwekugenda mu maaso.
Yagambye nti obusungu obwetuumbizi bubi kuba buvirako omuntu okukola ebintu ebikyamu nga Nankunda bweyakoze