Amawulire

Abasuubuzi beesunga kugabana obuwumbi 20 ku by’amataba g’e Nakivubo

MINISITA w'ebyensimbi, Matia Kasaija asisinkanye abakulembeze b'abasuubuzi n'abawa obweyamo nti Gavumenti emalirizza enteekateeka ez'okufulumya obuwumbi 20 ez'okuliyirira abaafiirwa emmaali yaabwe mu mataba g'omwala gw'e Nakivubo.

Akulira ekibiina kya FUTA, John Kabanda ng’alaga ebbaluwa gye baafunye okuva mu minisitule y’ebyensimbi.
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalists @NewVision

MINISITA w'ebyensimbi, Matia Kasaija asisinkanye abakulembeze b'abasuubuzi n'abawa obweyamo nti Gavumenti emalirizza enteekateeka ez'okufulumya obuwumbi 20 ez'okuliyirira abaafiirwa emmaali yaabwe mu mataba g'omwala gw'e Nakivubo.
Akafubo ka minisita n'abakulembeze b'abasuubuzi abeegattira mu kibiina kya FUTA ekikulirwa John Kabanda, kaabaddewo nga March 19, 2026 ku minisitule ey'ebyensimbi mu Kampala.
Kabanda yayanjudde ebyavudde mu kafubo kaabwe ne minisita eri abaamawulire mu lukung'aana lwe yatuuzizza ku ofiisi ze mu Kampala n'agumya abasuubuzi baleme kuterebuka kuba buli omu waakufuna omutemwa gwe okusinziira ku ngeri gye yakosebwamu.
Kabanda yannyonnyodde nti abasuubuzi abasoba mu 1,000 be bagenda okugabana obuwumbi 20 era akawunti zaabwe ssente kwe zigenda okussibwa baamaze dda okuziteekateeka.
Mu ngeri y’emu, abasuubuzi balaze okunyolwa olwa bannannyini bizimbe okubongeza ssente z'obupangisa, kye bagambye nti si kya bwenkanya naddala nga bali mu mbeera ey’ennyiike oluvannyuma lw'okufiirwa emmaali yaabwe.