Amawulire

Abasangiddwa nga basala ebifi by'ennyama ku mulambo babakubye ne babattirawo

Abatuuze ababadde abanyiivu bakakkanye ku basajja babiri ne babakuba ne babatta olw'ebigambibwa nti babasanze basalaasala ebifi by'ennyama ku mulambo gwa munnabwe abadde amaze ennaku ng' abuziddwawo. 

Poliise ng'eggyawo emirambo
By: Godfrey Kigobero, Journalists @New Vision

Abatuuze ababadde abanyiivu bakakkanye ku basajja babiri ne babakuba ne babatta olw'ebigambibwa nti babasanze basalaasala ebifi by'ennyama ku mulambo gwa munnabwe abadde amaze ennaku ng' abuziddwawo.

Kigambibwa nti mu muyiggo gwe  bakozi mu nnyumba y'abasajja bano, era basanze ennyama y'omugenzi endala ng'eri mu saffuliya bategeka kugifumba. 

Ekikolwa kino ekyentiisa, kibadde ku kyalo Kiryanongo mu Ggombolola y'e Bananywa mu disitulikiti y'e Kyankwanzi, abatuuze bwe basse Hakiza Damaseni ne munne Ssemasaka nga bombi Banyarwanda. 

Okubatta, kidiridde okubuzibwawo kw'omuwala nekoleragyange Vensi abadde omutuuze ku kyalo Nakabugo mu Ggombolola y'emu era abatuuze ne batandika omuyiggo okumala ennaku nga ssatu.

Kitegeezeddwa nti omu ku baliriraanwa w'abasajja bano, yasoose okuwulira ekivundu nga Kiva mu nnyumba, kwe kutemya ku batuuze ne bakola omuyiggo ne basanga omulambo gw'omuwala ogubadde gutandise okuvunda, nga gusaliddwako ebifi bagupakidde mu kutiya. 

Bayise ssentebe wa LC1 ku kyalo ekyo era naye n'ayita poliisi nti kyokka w'etuukidde, ng'ababiri bamaze okubatta ne babakumako n'omuliro.

Omwogezi wa poliisi mu Wamala, Lamerk Kigozi, agambye nti emirambo gyonna esatu, gitwaliddwa mu ggwanika ly'eddwaaliro e Ntwetwe Health center 4 ng'okubuuliriza, kukolebwa.