Amawulire

Abayizi 38 ababadde bagenda mu mizannyo bagudde ku kabenje omu n'afiirawo!

Omuyizi omu afudde n'abalala 38 ne balumizibwa mu kabenje akagudde ku luguudo oluva e Mbale okudda e Tirinyi mu disitulikiti y’e Budaka.

Abayizi 38 ababadde bagenda mu mizannyo bagudde ku kabenje omu n'afiirawo!
By: Godfrey Kigobero, Journalists @New Vision

Omuyizi omu afudde n'abalala 38 ne balumizibwa mu kabenje akagudde ku luguudo oluva e Mbale okudda e Tirinyi mu disitulikiti y’e Budaka.

Akabenje kabadde Jami Malo Nina, loole Isuzu nnamba UAP 443Z ebadde etisse abayizi ba Iki - Iki SSS nga babadde bagenda ku ssomero lya Jami Seed SS ku mizannyo kyokka ddereeva n'emulemerera n'egwa ne yeevulungula n'etta omuyizi omu.

Afudde , ye Babirye Linda 17 owa S.2 ng'abadde abeera Kadenghe mu ggombolola y’e Iki - Iki e Budaka.

Ku balumiziddwa, kuliko abawala 12 n'abalenzi 26 omufumbi omu n'omuserikale w'essomero era nga bajjanjabirwa mu ddwaaliro e Mbale.

Omwogezi wa poliisi e Bukedi, ASP Wilfred Kyempasa , agambye nti ddereeva Ahamada Mutamu akwatiddwa ali ku poliisi e Budaka ng'okubuuliriza bwe kugenda mu maaso.

Tags:
Amawulire
Muyizi
Kabenje
Kufa
Mizannyo