MINISITULE y'eby'ensimbi ekakasizza nti enteekateka ewedde ey'okuliyirira abasuubuzi abaakosebwa amataba era ssente zaabwe obuwumbi 20 baakuzifuna mu bbanga lya wiiki ssatu.
Pulezidenti w'abasuubuzi abeegattira mu kibiina Kya FUTA John Kabanda ng’asinziira mu lukung’aana lw'abannamawulire lw’atuuzizza ku offiisi ze mu Kampala alaze ebbaluwa gye baafunye okuva ku minisitule y'ebyensimbi ekakasa kino era n'agumya abasuubuzi baleme kuterebuka nti buli omu waakufuna omutemwa gwe okusinziira ku ngeri gye yakosebwamu .

Hajji Hussein Kato ng'alaga ekiwandiiko ekyafulumiziddwa
Kabanda annyonnyode nti abasuubuzi basoba mu 1000 be bagenda okugabana ku ssente zino era akawunti zaabwe zonna eza bbanka baamaze dda okuziteekateeka okugenda okutekebwa ssente zino .
Kyokka ssinga gavumenti enaalemererewa okutuukiriza baategeezeza nti ensonga baakugizza mu kkooti y'abantu olwo basalewo ki kye banazzaako .
Omuwandiisi w'ekibiina Kya FUTA, hajji Hussein Kato agambye nti yadde essuubi weeriri ery’okubaliyirira, naye era KCCA ng’eri wamu n'omugagga Hamis Kiggundu basaanidde okusoomoozebwa kuno okukusalira amagezi ag'olubeerera waleme kubeerawo mbeera ya bweraliikirivu buli nkuba lw’etonnya .
Mu ngeri y’emu abasuubuzi balaze okunyolwa olwa bannannyini bizimbe ate abasazeewo okubongeza ssente z'obupangisa ekintu kye bagambye nti sikyabwenkanya naddala nga bali mu mbeera eyennyiike oluvannyuma lw'okufiirwa emmaali yaabwe .