ABASUUBUZI ne bananyini bizimbe abakolera ku luguudo lwe Namungoona balajaanidde ekitongole kya KCCA awamu ne kampuni ya CRCC eyakwasibwa eddimu okuzimba ebiseminti ku ma bbali ge kkubo lino ku business zaabwe okufa.
Bano okwekubira omulanga kiddiridde okuzimba ekisenge ekiwanvu ekiyisa ebizimbe byabwe kyebagambye nti kino kisanyalaziza emirimu nga kati abatambuze tebakyalaba business zaabwe..
Okusinziira ku Sulaiman Ssali nga yomu kuba nanyini bizimbe yategeezeza nga bwe batalwanyisa nkulakulana wabula obuzibu kwekuzimba ekisenge ekyalese nga kibise ebizimbe byabwe nga business nnyingi zasanyaladde
Yekokodde kampuni ya CRCC eyakwasibwa omurimu obutefirayo nga bamaze ebbanga nga boogera nabo ku nsonga yeemu wabula nga besulirayo gwanaggamba okutuusa webekyaaye.

Aatuuze nga balaga ebizimbe ebyazibiddwa
Atwaala ebyokwerinda mu kitundu kkino Charls Nsamba yakukurumidde abakulu mu KCCA awamu ne ba contracta abesuliddeyo ogwa nagamba nga buli kiseera webabade bagezako okubayita bogereze ganye nabatuuze berema.
Ono abasabye okukanya nabatuuze kuba ebintu byaabwe nga kwotadde ne business zifa.
Abatuuze bawadde amagezi ba contracta okukakanya ku kiseminti ekizimbiddwa business zabwe ko namaduuka bisobole okulabika.
Wabula omusasi waffe mukwogerako nomu ku bakungu ba CRCC abakwasibwa eddimu ly'okuzimba ekiseminti ku luguudo luno ku ssimu Suzan Bikobere ategeezezza nga bbo ekitongole bakola ekyo ekyabawebwa KCCA okuzimba nga ne wankubadde bazze bafuna okwemulugunya.
Suzan awadde abatuuze amagezi okuwandiika ebaluwa mu butongole bagitwaale ku KCCA nga mulukiiko olunatuula asubira bbo abatuuze awamu ne KCCA okunogera ekizibu kkino eddagala